Bya Moses Kizito Buule
OMUYIMBI Omumerica Kanye West amanyiddwa ennyo nti enseko ze ziba z’akukamula nnyo, leero kyadaaki amaze n’accamuka n’asekamu bw’asisinkanye Pulezidenti Museveni mu makaage Entebbe.
Kanye nga abadde awerekeddwako mukyala we Kim Kardashian asisinkanye Pulezidenti Museveni ne babaako bye boogera mu kafubo ak’etabiddwamu abaana ba Pulezidenti abakulembeddwamu Gen. Muhoozi Kayinerugaba.
Olwaleero mu ebifananyi ebifulumye ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo mu Uganda n’ebweru gilaze nga Kanye abadde ataddeko akaseko ky’atatera kukola yadde nga muyimbi mwatikirivu mu Nsi ye eya America.
Era kino kyewunyisizza abantu kuba buli kiseera alabika nga munyiivu era amanyiddwa nnyo nga omu ku bayimbi abatiikirivu abatemanyiza nnyo bantu.
Wabula olwaleero bwabadde awaayo ekirabo eky’engato enjeru ky’atonedde Pulezidenti Museveni amwenyezza wakati mu kusikanggana mu mikono nga akabonero ak’okumusiima.
Museveni Naye amutonedde ekitabo kye ki Sawing The Mustard Seed. ekivvunulwa nti okusiga ensigo eyakalidaali ye (Museveni) kye yewandiikira, nga kilaga obulamu bwe n’ebyayisemu okutuuka waali.
Kigambibwa nti omuyimbi ono mukwano nnyo gw’abaana ba Pulezidenti, nti era balabika okujja kwe kuno bakulinamu omukono gw’amaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com