Bya Moses Kizito Buule.
ABAVUBUKA abasoba mu 90 basubiddwa okwessogga eggye ekkuuma byalo (LDU) nga entabwe eva ku ndwadde ezibasumbuwa.
Col. Ronald Bigirwa akulira okuwandiisa mu kitundu kino agamba nti Abavubuka mu bitundu bino tebefaako kwejjanjaba ndwadde omuli eziretebwa okunywa ebilagalalagala nga siggara, enjaga n’omwengwe, nti era bakizudde nga abasinga kubo ebibumba n’amawuggwe bilwadde kyokka nga bakyali mu myaka mito.
“Oluvanyuma lw’okwekebejja abavubuka bano tukizudde nga abasinga kubo balwadde, ate ekisinze okutwewunyisa abali mu myaka gy’etubadde twagalira ddala bebalwadde, ate abaliko mu myaka emikulu bbo balamu bulungi, kale kino kituzizzaamu emabega katono.” Col. Bigirwa bwe yategezezza.
Yagambye nti abamu babasanze balina akawuka ka kiryatabaala, abalala nga balina enkovu nnyingi ku mibiri gyabwe, songa n’abandi tebakyalina mmanyo mu kamwa.
Yasabye abazadde okw’ekubiriza okutwala abaana mu malwaliro bagemebwe nga bakyali bato nti ne bwe baba bakuze bagemesebwe obulwadde bwa Hepatitis B nti kubanga bakizudde nti mu ma Disitulikiti omuli, Yumbe,Adjumani, Arua, Koboko, Maracha, Moyo, Nebbi, and Zombo babusanzeeyo nga bungi ddala.
Wabula oluvanyuma basobodde okuwandiisayo abawera 140 abatwaliddwa okutendekebwa.
Enkola eno yatekebwawo Pulezidenti Yoweri Museveni oluvanyuma lw’abatemu abakozesa emmundu okutta abantu ab’enjawulo nga bakozesa emmundu, n’alagira bawandiike abavubuka okwegatta ku Ggye lya LDU nga omulimu gw’okuwandiisa yagukwasa UPDF.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com