Bya Moses Kizito Buule.
ABATUUZE b’okukyalo Namubiru ekisangibwa mu Gombolola ye Nama e Mukono baloopedde akakiiko k’oMulamuzi Catherine Bamugemereire omugagga Dick Banoba abafuukidde ekyambika, nga ono abagobaganya ku ttaka.
Bano nga bakulembeddwamu mutuuze munaabwe Umar Sebuyungo bategezezza Omulamuzi Bamugemereire nti, Agasajja gabalumba mu kiro ekimu mu mwezi gw’okuna omwaka guno n’ebatandika okukuba buli mutuuze gwe basanga mu nnyumba nga yebase era n’abamu babatuusaako obuvune saako n’okubononera ebintu byabwe.
Yayongeddeko nti Omugagga ono akozesa nnyo Poliisi okutulugunya abantu abali ku ttaka lino, era nga kababe bakulembeze teri gw’awuliriza, nga yatuuka n’okuleeta bakanyama bakuume ettaka lino nga babeera n’embukuuli z’emiggo nga kw’otadde amajjambiya.
Mu lukiiko olw’atuziddwa ku ttaka lino abatuuze balombozze ennaku omugagga Dick Banoba gy’abatuusizzako nga kwotadde okubabonyaboonya saako n’okusuula amayumba gaabwe ku ttakka nga kati abasinga kubo basula wabweru.
Oluvannyuma akakiiko kalambudde ettaka lyonna era n’ekatuukako ne mu maka g’abantu agasanyizibwawo era ba Puliida b’akakiiko ne bafuna obujulizi okuva ku bantu ab’enjawulo.
Bamugemereire yategezezza abatuuze nti abadde aludde nga awulira emirerembe egiri ku ttaka lino, era n’abagumya nga akakiiko bwe kagenda okubaako ne kye kakola okusobola okubataasa, era n’ebakkaanya nti bagenda kudda nga 25 omwezi guno bawe ensalawo yaabwe.
Kigambibwa nti Dick Banoba yafuna ettaka lino mu myaka gya 1964 okuva ku bazadde be era nga nabo ly’abaweebwa omugenzi kati eyali Ssekiboobo we Ssaza lye Kyaggwe Hamu Mukasa, kyokka bwe yamala ebbanga nga talikozesa abatu ab’enjawulo n’ebatandika okulyesenzaako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com