Bya Moses Kizito Buule
SABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yatandise ku Ssande okulambula emilimu egikolebwa abantu be mu Ssaza lye ely’eKyaggwe nga welekeddwako Katikiiro Charles Peter Mayiga saako n’abakungu abarala okuva e Mengo.
Omutanda yatuuse mu Ssaza lye lino ku ssawa nnya n’ekitundu wakati mu mizira okuva mu bantu be ababadde bamulindiridde nga bakwatiridde ku makkubo , wabula kuluno teyavuddemu mu mmotoka ye nga bwatera okukola era nga yagenze buterevu okulambula emirimu egikolebwa abantu be.
Omutanda yasookedde ku kyalo Nabiyangi mu Ggombolola ye Kyampisi gye yalambulidde omuvubuka omulimi asinga mu ssaza lino Godfery Ssaava Ssebunya alima obutunda,era ng’akola eky’okunywa ekimanyiddwanga Sena Juice.
Bweyavuddeyo yagenze buterevvu ku mbuga ye ssaza lino esangimbwa ku kyalo Ggulu n’agilambula era n’aggulawo etterekero lye bitabo wamu n’okusimba omuti ogw’ekijjukizo nga wano yatuuseewo ku ssaawa ttaano n’ekitundu olw’avudde wano yayolekedde essomero lya JessyJonny elisangimbwa ku kyalo Ngandu mu Division ye Mukono ng’alino lye singa mu kukuuma obutonde bwensi mu Ssaza lino era ng’eno omutanda yatongozza amassanyalaze agakolembwa mu kazambi.

Ssabasajja bwe yamaze wano n’ayorekera ekyalo kye Kisoga ku ddwaliro lya Herona health Centre n’aggulawo ekifo we bajjanjjabira amaaso, nga bwe yavudde wano yayorekedde e Ngogwe Bukunja gy’eyalambulidde olusuuku
n’oluvanyuma n’afundikira okulambula kwe e Salama ku ssomero lya bamuzibe ng’eno era aggaddewo olusirika lw’abaami.

Oluvanyuma Omuteregga ayolekedde ku mbuga e Ntenjeru awali olubiri lwe gya genda okusula era nga we wagenda okubeera entiiko y’emikolo gya bulungi bwansi ne gavumenti ez’ebitundu.




Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com