Bya Moses Kizito Buule.
EYALI omuddumizi wa Poliisi mu maserengeta ga Kampala Siraj Bakalake ebintu by’ongedde okumwononekera, Omulamuzi wa Kkooti ewulira egy’obukenuzi mu Kampala bw’ayisizza ekiragiro akwatibwe, asobole okuddamu emisango egimuvunanibwa omuli ogw’okukozesa obubi Office ye, okuwamba nga kw’otadde n’okwekobaana okunyaga eby’amaguzi,
Omulamuzi Moses Nabende yeyayisizza ekiragiro kino, oluvanyuma lw’okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti Harriet Ongom eyategezezza nti bamaze ebbanga ddene nga bayita Bakaleke okuyita mu ba Puliida be aba Robert Senguka and Nakacwa Partners nga baagala addemu emisango egimuvunanibwa naye nga yafuuka gwe kanyanya.
Yategezezza nti banne bavunanibwa nabo okuli D/ASP Innocent Munezero, D/ASP Nuwaggaba Innocent, D/AIP Robert Asiimwe, PC Babu Gastavas, PC Amanya Junior ne PC Kenneth Zirintuusa, bonna balabiseeko mu kooti ku lw’okutaano emisango egibavunanibwa ne gibasomerwa era n’ebajegaana.
Bano basomeddwa emisango omuli okukwata mu ngeri emennya amateeka saako n’okutulugunya bannansi ba Korea.
Bano era bavunanibwa ne banaanabwe okuli Mugoya Wanyoto Paul ne Samuel Nabeeta abagambibwa okuyambako abaselikale ba poliisi okunyaga bannaNsi ba Korea emitwalo gya doola za America 415,000 wakati we nnaku z’omwezi 4 ne 11 ogw’okubiri omwaka guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com