Bya Moses Kizito Buule.
AKULIRA ekkomera lya Gavumenti elisangibwa ku kyalo Kauga mu Division ye Mukono Mary Tamale avuddeyo n’awajjangira gavumenti okuvaayo mu bwangu babagaziyize ku kkomera ly’eyongereko obunene kiyambeko ku mujjuzo gw’abasibe oguli mu kkomera lino.
Tamale yategezezza nti embeera abasibe bano gye basulamu mbi nnyo nga bepanga bwe mpazi ku banaabwe mu kiseera ky’okwebaka nga kino kivudde ku mujjuzo oguli mu kkomero lino kyokka nga tonno nnyo bw’ogerageranya n’omuwendo gwe baalina.
Bino Tamale yabyogeredde ku kitebe kya district e Mukono mu lusisira lwe by’amateeka olw’ategekeddwa ekitongole kya Justice Center Uganda mwe ky’ababagulidde abantu ku mateeka ag’enjawulo wamu n’okutongoza ekitongole kino mu bitundu omuli Mukono, Kayunga ne Buikwe n’ebitundu ebirala nga bakuyambako abantu abanaku okufuna ba puliida awatali kusasula nsimbi yonna mu misango gyabwe.
Ono yagenze mu maaso nategezza nge kkomera lino bwe ly’azimbwa mu myaka gye 37 nga ly’alina okusuza abasibe 150 wabula n’okutuusa kati telikyusibwanga kyokka ng’omuwendo gweyogera buli kadde.
Mungeri yemu yenyamidde olw’abasibe abateebwa kyokka bw’ebatuuka eyo n’ebakomezebwawo nga bakyusinza amannya kye yagambye nti kibakola bubi nnyo nga abaselikale bwatyo nasaba abantu okwekuba mu mitima ne bakyusa ne mpisa singa babeera bayibuddwa.
“Banange naffe tuli bantu yadde twambala zino uniform zemulaba era tetwagala kubayisa bubi, kuba bwetunaba tuwumudde emilimu gino ate tujja kudda mumwe, tetwagala kubayisa bubi nga babaleese eno gye tuli naye mutuwaliriza naffe n’etukyusamu ku nkola, kuba omuntu babeera bakamuta ate n’akomezebwawo kyokka ekisinga okw’enyamiza feesi ebeera y’emu wabula ng’akyusinza amannyi. Tusaba mukyukire ddala nga muyibuddwa.” Bwatyo Tamale bweyalajjanidde abasibe.
Tamale yasiimye ekitongole kino okujja e Mukono nti kuba kyakumuwewulako ku muwendo gw’abasibe ababadde balwa mu ma kkomera olw’okubulwa ababalwanirira.
Ye ssentebe wa district Anrew Ssenyonga yasiimye ekitongole kino okuvaayo okuyamba ku bantu n’abasaba okubeera abegedderezza n’addala kunsonga z’ettaka kuba zifuuse namulanda mu kitundu kino.
Ono ayambalidde ababaka ba palimenti saako n’omukulembeze olw’etteka lye ttaka ye lyagamba nti linyigiriza omuntu wa wansi.
Akulira Justice Centers Uganda Mukono Branch Pamela Akello Kamlega yalambuludde ebimu bigeddererwa bya gavumenti okuvaayo n’enkola eno omuli okuyamba abantu okufuna obwekanya saako n’okufuna balooya awatali kusasula.
Omuyima w’ekibiina ekigatta abasumba ba balokole mu Mukono ekya Love Peace and Unity Pastor’s Destiny’s Forum Samuel Lwandasa yasiimye enteekanteeka eno n’ategezza nga bw’egenda okuyamba ennyo omuntu wa wansi kuba bangi babadde banyagimbwako ebyabwe olw’okuba nga amateeka tebagamanyi bulungi, ekiwa omukisa banakigwanyizi okutwala ebyabwe
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com