Bya Moses Kizito Buule.
MUNNAMAWULIRE avudde mu mbeera n’atwala n’atwala essomero lya St. Augustines College School elisangibwa e Wakiso mu mbuga z’amateeka nga agamba nti ze ziba zilamula ku nsonga y’okumukuba bwe yali agenze okukola omulimu gwe gye buvuddeko.
William Mutyaba akola ne kitongole kya vision Group ku lw’okuna nga ayita mu ba Namateeka be aba Walyemera and Compony Advocates basazeewo okutwala Essomero lino mu kkooti enkulu saako n’omusomesa Kennedy Akena nga omuntu nga bamulanga okuddumira abayizi ne bamukuba era n’ebamutuusaako ebisago eby’amaanyi.
Mu mpaaba ye Mutyaba agamba nti nga 27, omwezi gw’omusavu omwaka guno bwe yali ku kyalo Kayunga gy’asula yafuna amawulire nti essomero lino lyali likutte omuliro, era nafuna kkamera ye eyamuli emitwetwe n’abukira boda boda amangu ago eyamutuusa ku ssomero lya St. Augustine, asobole okukwata amawulire nga nga bweri enkola y’abannamawulire okutegeeza anantu ebiba bigenda mu maaso mu bitundu eby’enjawulo.
Anyonyola nti amangu ddala nga yakatuuka ku ssomero yasanga ddala kituufu nga omuliro gwali gumaze okukwata ebisulo by’abayizi era nag an’abamu ku batuuze abalinaanye essomero baali batandise okuyingira munda mu ssomero.
“Amangu ago n’atandika okukwata ebifananyi nga abayizi n’abantu ebenjawulo bagezaako okuzikiza omuliro, saako n’okutaasa ebintu by’abayizi. Wabula wakati mu kukola omulimu gwange omusomesa oluvanyuma eyategerekaka amannya ge nti ye Kennedy Akena yambuuza ani andeese era ne mweyanjulira nti ndi munnamawulire kyokka teyampuliriza amangu ago n’adduumira abayizi bankoleko.
Abayizi abaali abakambwe banjikira ne bankuba buli omu kye yasanga era ne ngezaako okudduka mu ngeri y’okwetaasa kyokka era Akena yali alagidde omuselikale akuuma ku geeti agisibe nneme kufuluma, abayizi bayongera okw’esomba era ne bankuba ku mutwe saako n’okunteekamu ensambaggere ez’okumukumu n’engwa ku ttaka nga bw’endaajana bandeke” Mutyaba bwe yanyonyodde.
Ayongerako nti oluvanyuma yakizuula nti yali afunye ekiwundu kinene ku mutwe saako n’eriiso lye lyaali likubiddwa nnyo era nga avaamu musaayi mungi nnyo, era yagenda okukebera kkamera ye nga bagimuwambyeko, endaga muntu saako n’ebintu bye ebilala bye yali nabyo.
Kati ayagala kkooti ekake abakulira essomero lya St. Augustine bamuliyirire obukadde bwe nsimbi za Uganda 80, nga kw’otadde n’okukangavvula omusomesa Akena olw’okumukuba saako n’okumuswazaswaza mu bantu.
Kinajjukirwa nti Bannamawulire bangi bazze bakubwa abantu eb’enjawulo saako n’ebitongole by’okwerinda mu Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com