Bya Moses Kizito Buule.
‘OBULAMU bunkaluubiridde olw’okubeera mu nsi nga simanyi kitange. Ku myaka 34 gye nnina, sirabanga ku kitange era kino kinsuza nkulungutana.’ Bw’atyo Sunday Francis atatuumwanga ku linnya lya kika bw’alajana
Sunday nga emirimu gye agikolera mu Shawuriyaako mu Kampala anyonyola bwati,Nazalibwa mu 1984 ku kyalo Obooro, mu ggombolola y’e Ndogwa mu disitulikiti y’e Kabale. Mmange ye Austine Bakiremeka, 54.
Maama yatuzaala abaana bangi mu taata gwe yafumbirwa era nali mmanyi nti ye kitange. Bwe nagenda nkula, taata ono yatandika okumpisa obubi nga kw’atadde okunnangira nga bwe siri mwana we n’ahhaana n’okusoma.
Bwe natuuka mu P.6 eby’okusoma nabivaako ne ntandika okulunda ente za kkojja wange era yeyandeeta e Kampala.
Ebbanga lyonna lye mmaze ne maama simuwulirangako ng’ayogera ku kitange wadde ab’ekika kyange. Kino kyantiisa era bwe nagenda nkula ne nfuna obuvumu obumubuuza kyokka okwandibadde okunziramu, yakambuwala n’ambuuza kye mmwagaza.
Olumu nabuuza bakkojja oba bo bamumanyi ne banziramu nti maama yagaana okumubalaga ate nabo batya okubimubuuza kubanga abayombesa mu busungu obungi.
MAAMA YAKOOWA TAATA
Ennaku zino maama bwe mmubuuza kitange anziramu nti, oyo tayagala kumuwuliza yadde okumwogerako kubanga yamuleetera ennaku gy’alifa teyeerabidde.
Agamba nti bwe njogera ku taata aba awulira ayagala ettaka limumire era tayagala kumanya.
Bwe nabuuliriza ennyo, waliwo omukyala gwe mmanyiiko erya Sarah nga musuubuzi mu Kampala eyambuulidde ebikwata ku kitange.
Yagambye nti, ye (Sarah) yali akola bwayaaya ne mmange mu maka ga Polof. Arnest Beyalaze eyali omusomesa mu yunivasite y’e Makerere nga kati yagenda mu Amerika.
Yantegeezezza nti, maama olubuto yalufuna ku muyizi w’e Makerere era awo we byakoma kuba teyaddamu kumuwuliza ate nga teyamubuulira gy’azaalibwa.
Nti bakamaabe bwe baamanya nti ali lubuto, baamuzzaayo e Kabaale n’abeera ewa ssengaawe okutuusa lwe yanzaala ne mmufuukira ekizibu n’okutuusa kati.
Kati njagala kuwasa naye njagala kusooka kuzuula kika kyange kuba waliwo we nafuna omukyala naye ab’ewaabwe bwe bambuuza abanzaala nga sibamanyi ne bamugaana okunfumbirwa, era ne kimpisa bubi nnyo.
Ate nga nange ntya nti bwe ndiwasa omukyala nambuuza ssezaala we gy’ali, nnaamuddamu ki? Bo abazzukulu bwe banaayagala okulaba ku jjajjaabwe n’akola ntya! kale bynna binnumya omutwe.
Ndi musuubuzi era emirimu gyange gibadde gitambula bulungi. Nkubira abakyala mwenna omulanga, bw’oba tonnaganza musajja, sooka omanye gy’asibuka kubanga kino nze kye kinbonyaabonyezza n’enkoowa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com