Bya Musasi Waffe.
ABAKULIRA ekitongole ekikessi eky’amaggye (CMI) ku lunaku lw’okuna akawungeezi baatuula ne basalawo okutandika omuyiggo ku bagambibwa okutta abantu nga abakozesa boda boda saako n’okumiza omusu OmuPoliisi Muhammed Kirumira, oluvanyuma lw’okufuna amawulire amekusifu agabakwatako.
Ba mbega bakitegeerako nti abampembe bano baaliko obugenyi bwe baali bagenzeeko mu bitundu by’Adjumani mu West Nile, nga eno baali bagenze okukyalira munaabwe amanyiddwa nga Abasi Wasswa ono nga naye mukwate kati.
Mu maka ga Wasswa basangayo Najib Shaban ne Abdulkarim Sekyanzi benyini abaali banonyezebwa okumala akaseera, Ekiwendo kyeyongerayo mu Gombolola ye Butyaba ekisangibwa mu Disitulikiti ye Buliisa era nayo ne bakwatayo abalala okuli Abubaker Kalungi agambibwa okuba nti kyandiba nga naye aliko kyamanyi ku kutemulwa kwa Kirumira, ono yali yekukumye ewa mukwano gwe amanyiddwanga Bashir Hamis naye eyakwatiddwa.
Mu balala abakwatiddwa mulimu ne mukwano gwa Kalungi Mohammed Yusuf nga ono naye yasangiddwa wamu ne Kalungi e Buliisa.
Mu nnaNsi wa Rwanda Bashir Hamid Mugisha naye yakwatiddwa nga ono naye kigambibwa nti akolagana butereevu nabatujju.
Ku Lwokutaano bambega baakedde kulondoola Sheikh Kateregga okuva w’asula e Namungoona ne bamulinnya akagere okutuuka ku kaduuka ka mukazi we Mariam Kasujja, era awo abajaasi ba CMI we baabaweeredde ekiragiro okumusalako bamukwate n’obwegendereza obwekitalo, kyokka bwe yabalabye nga bakutte emmundu nasalawo okubinnyika mu nsuwa.
Awatali kulonzalonza Abajaasi ababadde abakambwe bamusimyeko nga kw’otadde okumwolekeza amasasi agamukutte mu lubuto n’amagulu, era n’afa nga atwalibwa mu ddwaliro olw’okuvaamu omusaayi omungi.
Abantu ab’enjawulo abaabaddewo nga Sheikh Kateregga akubwa amasasi bagamba nti Sheikh olwakubye amaaso ku bajaasi ababagalidde emmundu, n’afunya ku kkanzu n’atandikirawo okudduka olwo amagye ne gasumulula ebyasi.
Oluvanyuma Mukyala we Mariam Kasujja naye yakwatiddwa n’atwalibwa, ate oluvanyuma yakomezeddwawo ku mpingu, Abajasi ne baaza enju ye yonna mu bukuumi obw’amaanyi.
Kateregga, y’omu ku BamaSheikh abakulu ku muzikiti ogwa Masjid Jamia e Namung’oona, nga yaliko mu by’obuyeekera bwa ADF kyokka n’aweebwa ekisonyiwo mu myaka gya 1990.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, SSP Emilian Kayima yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Lwomukaaga akawungeezi nti, Kateregga okuttibwa kyaddiridde ekikwekweto ekyayindidde e Namung’oona, mu munisipaali y’e Lubaga mu Kampala era nga kyetabiddwaamu n’ebitongole ebirala.
Kayima yategezezza nti, ng’oggyeeko Kateregga waliwo abantu abalala mwenda, abaakwatiddwa nga babateebereza okwenyigira mu kutta abantu nga batambulira ku bodaboda, okumenya amayumba g’abatuuze, n’okubbisa emmundu mu Kampala n’emiriraano.
yayongeddeko nti bonna abaakwatiddwa bakuumibwa mu buduukulu bwabwe obw’enjawulo mu Kampala n’emiriraano nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Kinajjukirwa nti ku nkomerero ya April 2018, Amaggye ne Poliisi baalumba omuzikiti gwa Usafi bwe baali baliko omusajja gwe banoonya ng’ateeberezebwa okuba ne ky’amanyi ku by’okutta omuwala Suzan Magara.
Mu kulumba omuzikiti guno, poliisi yasiitaana oluvannyuma lw’Abatabbuliiki abaali beerwanako okukkakkana ng’Abasiraamu babiri bakubiddwa amasasi agaabattirawo.
Mu kikwekweto ekyakolebwa ku muzikiti guno, abasajja 36 baakwatibwa wamu n’abakazi 18 ssaako n’abaana 94 ne batwalibwa ku poliisi e Kibuli.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com