Bya Moses Kizito Buule.
BANAMAWULIRE ababadde bakwata ebigenda mu maaso nga omubaka wa Kyadondo East Kyagulanyi Ssentamu akomyewo okuva mu America gyabadde nga ajjanjabibwa, bakiguddeko Poliisi bwe bakutte ne baggalira nabalala n’ebononerwa ebintu byabwe bye bakozesa okukwata amawulire.
Okusinziira ku Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekibagatta ekya Human Rights Network For Journalists Uganda HRNJU Julius Esegu, ategezezza nti bangi ku bano bakubiddwamu empi n’okusikasikanyizibwa abaselikale ba poliisi n’amaggye.
Abakwatiddwa kuliko Sabawandiisi w’abanamawulire bano Henry Lubuulwa, owa URN, Eva Muganga owa kaboozi ne Radio One, Joel Ssenyonyi owa NTV, Dianah Kibuuka owa CBS, Charles Katabalwa owa Sapienthia, Ssematimba Bwegiire owa Simba Johnson Luwenda owa Newvision, Siraj Kiberu owa KTV, Moses Kyeyune nabalala nga bano bonna mu kiseera kino bakyaggaliddwa ku kitebe kya poliisi Entebbe.
Esegu agambye nti mu kiseera kino Banamawulire balina okusigala nga bagumu okukola omulimu gwaabwe ogw’okutegeeza Eggwanga ekigenda mu maaso, era nanenya abakuuma ddembe abakoze kino, kyayogrddeko nga ekitali kyabugunjufu nakamu.
Ate ye Omukwanaganya we mirimu mu kitongole kya HRNJU Robert Sempala alaze obwenyamivu olw’ebikozesebwa mu kusaka amawulire omuli zi kkamera n’obuuma obukwata amaloboozi abakuuma ddembe bye bonoonye nagamba nti bagenda kulaba nga baggulawo emisango ku bitongole bye by’okwerinda egyekuusa ku kutulugunya Bannamawulire ababadde ku mirimu gyaabwe.
“Tetumanyi kati kyakukolera bantu bano kubanga tebatukkiriza kukola mirimu gye twasoma, ate nga tutudde nabo emirundi mingi nga tubaako bye tukkaanya nabo naye nga tebabissa mu nkola” Sempala bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com