BYA MOSES KIZITO BUULE.
SIPIIKA Rebecca Kadaga alagidde gavumenti okunnyonnyola amakubo g’ekutte okukangavula abajaasi ba UPDF abagambibwa okutigomya abavubi ku nnyanja nga babaggyako ssente n’okuwamba ebyennyanja byabwe.
Kino kidiridde Pulezidenti Museveni okulagira abajaasi okussibwa ku nnyanja za Uganda okulwanyisa envuba embi kyokka abavubi babekokkola nti bayitiridde okubatulugunya.
Sipiika Kadaga eyabadde akubiriza palamenti yatadde ku nninga ofiisi ya Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda okunnyonnyola amakubo gavumenti g’ekutte okulwanyisa abajaasi abatulugunya abavubi.
Ababaka abatali bamu okwabadde George Ouma (Bukholi) yagaambye nti aba UPDF bawamba ebyennyanja by’abavubi nga kwotadde okubakuba emiggo, okubawambako ebyennyanja n’okubaggyako ssente.
Ouma yagambye nti alina okutya nti ayinza okutuusibwako obulabe olw’okuyingira mu nsonga zino. Munne Geoffrey Macho owa munisipaali y’e Busia yagambye nti abantu baamukubye olube bwe yabadde abawaanira NRM ng’entabwe eva ku bajaasi batulugunya bantu.
Omubaka wa UPDF, Lt. Gen Ivan Koreta (UPDF) yasabye Palamenti okuminkirizaako minisita akwatibwako aleete ekiwandiiko akisome mu lujjudde lwa Palamenti ku nsonga eno oluvannyuma lw’okukwatagana ne bakamanda b’amagye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com