NGA omu ku kawefube w’okuddamu omulanga gw’abatuuze abasangibwa mu nzigotta eziri mu kibuga Kampala naddala abo abatalina ky’akulya mu biseera bino eby’ennaku enkulu, Akulira offiisi ya Ssentebe we Kibiina kya NRM (ONC) Hajjat Hadijjah Namyalo ku mande olunaku lwonna alumaze mu Division ye Nakawa mu Acholi Quaters nga agabira abantu emmere.
Kino kidiridde abantu ab’enjawulo buli kadde okweyiwa ku office ya Ssentebe we kibiina kya NRM esangibwa e Kyambogo nga balaga obwetaavu bw’okubafunirayo ku ky’okulya nga kino kye kyaviirako abagikulira okusalawo okuwaayo emmere mu biseera bino eby’ennaku enkulu.
Bwabadde akwasa abatuuze emmere omubadde akawunga, omuceere wamu ne bijanjaalo, akulira ONC Hajjati Hadijjah Namyalo agambye nti kino bakikoze okusobola okuddukirira omulanga gw’abatuuze abali mu mbeera embi n’aabo abawangaalira mu nzigotta basobole okufuna ku ky’okulya.
Ategezezza nti abakulembeze mu bitundu bino babadde bamuli bubi nga bamutegeeza embeera ye njala eli mu bantu baabwe naye kwe kusalawo okutegeeza Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni era nga ye nanyini offiisi gy’akulembera eyamuwa olukusa saako n’obusobozi okufuna eby’okulya bino.
“Tusazeewo okubawa ebintu bino okubalaga nti Pulezidenti Museveni akyabagala era abafaako ne mbeera gye mulimu yonna agimanyi bulungi, emmere eyo ntono naye mufube okugikozesa obulungi temujonoona esobole okubayamba.
Tetubawadde yakutunda era abantu baffe bagenda kusigala nga babatunuulira ne riiso ejjogi, nga oyo anagitunda oluddako tetujja kumuwa” Namyalo bwategezezza.
Amyuka akulira eby’amawulire ku ONC Moses Kintu ategezezza nti bagenda kweyongerayo nga bagaba emmere mu bitundu byonna okwetoloola Division zonna ez’aKampala.
Obusobozi tukyabulina obuddiza ku bantu baffe kubanga Ssentebe we kibiina kya NRM saako ne Maneja wa ONC omutima ogugaba bagulina” Kintu bwategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com