ABAKULIRA offiisi y’omukulembeze we Ggwanga ey’eKyambogo ONC mu ttundutundu lya Greater Mukono badduse bukubirire ku kyalo Nakanyonyi Mission ekisangibwa mu Town Council ye Nakifuma naggalama mu Disitulikiti ye Mukono okusobola okutaasa muzeeyi Lawrence Kayala 80 agambibwa okutwalibwako ekibanja mulirwanawe.
Kigambibwa nti aba Famire ya Ibrahim Muwonge gye buvuddeko beekobaana ne Ssentebe we kyalo Aisha Makumbi saako n’omwami we era nga ye mumyuka wa Ssentebe Abdul Makumbi ne bakola ekiwandiiko ekikkiriza ba Muwonge okusala ettndutundu ku kibanja Kayala kyamazeeko emyaka egisoba mu 40 era nga kwe kuli ne biggya bya bakadde be.
Kayala yattotoledde akulira ekibinja ekyawerezebwa mu Greater Mukono okuva mu offiisi ya Pelezidenti e Kyambogo (ONC) Faisal Kigongo Luggya ennaku gy’ayitamu okuva lwe yatwalibwako ekibanja kye era nga abakitwala tebamukkiriza yadde okulinnyako songa ne mmere gye yali asimbye nayo baagimulemesa okugikungula.
Yanyonyodde nti ekibanja kino yakifuna mu mwaka gwa 1950 era nga ne ndagaano kwe yakigulira azirina mu bujjuvu, nti era abadde akikolerako ebbanga elyo lyonna nga tewali amukuba ku mukono.
“Newunyizza abaana ba muliranwa wange Muwonge okulaba nga baleese abapunta okusala mu kibanja kyange awatali yadde okunebuuzaako era nga bawerekerwako Ssentebe we kyalo n’omumyuka we kyokka nga nabo batuuze banange abamanyidde ddala buli omu waayita era nga ne mpaanyi nkulu zeeraga zonna.
“Mu kiseera kino simanyi kyakukola kubanga bantiisatisa okunsiba yadde nga nabawabira omusango ku Poliisi ye Naggalama kyokka baagana mu bugenderevu okugendayo okuwa obujulizi ku bwananyini bwe kibanja kubanga bamanyi nti baagala kunyaga Bunyazi” Kayala eyabadde omunyikaavu bwe yanyonyodde.
Sentebe wa LC ey’okubiri mu kitundu kya Nakanyonyi ward etwala ekitundu omuli ekibanja ekiriko enkalu Francis Wagaba yategezezza nti nabo nga abakulembeze bekitundu bali mu kwewunya engeri abaana ba Muwonge gye bavaayo okutwala ekibanja kya Kayala nga bamanyidde ddala nti ssi kyabwe.
“Obuzibu obusinga buviira ddala ku bakulembeze ba LC1 ab’ekobaana n’abaagala okutwala ekibanja kya mutuuze munaffe, era nga ebbanga lyonna mbadde mbayita baleete ebiwandiiko kwe basinziira okukitwala nga teabalina kye balaga.
Okuva omwaka oguwedde tubasaba ebiwandiiko kyokka tebabileeta ye nsonga lwaki twabiyingizaamu RDC wa Mukono Hajjat Fatuma ndisaba eyajja ne tumulaga buli kimu era n’ayimiriza byonna ebyali bikolebwa ku kibanja kino n’okutuusa kati.
Wabula ekyatujje enviiri ku mutwe kwe kulaba ate nga abantu be baayimiriza bakomyewo okusimba ebikondo naffe kwe kuyita aba offiisi y’omukulembeze we Ggwanga batutaase” Wagaba bwe yategezezza.
Akulira ONC mu Greater Mukono Faisal Kigongo Luggya mukwanukula abategezezza nti naye akyasibidde ku kilagiri kya RDC Ndisaba kye yawa nga ayimiriza byonna ebigenda mu maaso ku kibanja kino, era nabasuubiza okutuukirira buli gwe kikwatako basobole okufuna obwenkanya.
“Mbakakasa teri agenda kubagoba ku kibanja kyamwe okusinziira ku biwandiiko bye mundaze ate nga ne be mugugulana nabo bagaanye okuggya tuwulirize oludda lwabwe, nze ne banange tugenda kulaba nga tukola ekyetaagisa kyonna okubataasa.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni tayagala muntu yenna atataaganya bantu be ku bibanja era ensonga zonna zigenda kukolwako nga tweyambisa offiisi zo ezikwatibwako” Kigongo bwe yagambye.
Ettaka lino lya kkanisa ya Uganda era nga litwalibwa obwaSsabadiikono bwe Nakanyonyi
Gye buvuddeko Omukulembeze we Ggwanga yayungula ekibinja kyabavubuka 180 okwetoloola Uganda yonna bamuyambeko okulwanyisa obulyake, okulondoola ensimbi y’omuwi w’omusolo saako n’okutaasa abanyigirizibwa nga bakolera wansi wa Hajjati Hadijja Namyalo akulira ONC mu Ggwanga lyonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com