OMUBAKA we Ssaza lye Kakuuto mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Geofrey Lutaaya avuddeyo nabaako byatangaaza ku bigambibwa nti yayogera ebigambo ebyali bisiga obusosoze mu bantu naddala eri e Ggwanga lya bavandimwe.
Lutaaya agamba nti abantu abamu baamutwala bubi nti era abasinga baatandikira awaali ebigambo eby’obukambwe bye yakozesa ku mukolo gwe yaliko mu bitundu bye Kkooki, naye nga kyali kivudde walako.
Yanyonyodde nti waliwo akabinja akaali ku mukolo ogwo nga bwe kalaba abali mu bukofiira bwa People Power babalekanira saako n’okuboogerera ebisongovu, ekyamuletera okuva mu mbeera nti kubanga baali ku mukolo gwa munnaNUP nga kizibu okulekayo langi ze kibiina kyabwe.
Yagasseko nti abavubuka bano oluvanyuma be yategeera nti baali Bavandimwe era baagenda mu maaso ne boolesa empisa ensiwufu nga balekaanira waggulu nti “atali wa NRM teri kwogera wano”, ekyo kye kimu ku kyamuletera okubasongamu olunwe mu ngeri y’okubakakkanya kubanga baali beefudde ebbereeje ku mukolo nga n’abatuuze batandise okunyiiga.
“Baganda bange Abavandimwe namwe mulina okweddako saako n’okulaga empisa naddala nga waliwo omukolo ogukungaanyizza abantu ab’enjawulo, kubanga mu by’obufuzi kizibu abantu bonna okuwagira ekibiina ekimu.
Nze nalondebwa bantu omwali n’abaNRM nga n’abamu tebatunuulira kibiina mwe najjira wabula batunuulira bukozi bwange ne bigambo bye nakozesa nga noonya akalulu.
Nze Lutaaya sisobola kusosola Banyarwanda kubanga bangi baakulira mu maka ga bakadde bange gwe naddira mu bigere nga n’abamu baaziikibwa ku ttaka lye waffe era nga n’abaana baabwe tukuze nabo, tukola nabo, bampagira nga tebatunuulidde Ggwanga lyange era nange mbawa nnyo ekitiibwa ekibasaanira.
Nali ku kitundu kye Kyakatumwa nga kye kimu ku bitundu gye nkiikirira omwami omu najja nandagira nzijeko enkofiira yange ku mutwe kye nalaba nga kyabujoozi ne ngaana, Omwami oyo yajjayo embukuuli y’omuggo naayita mu bantu ankube naye abantu ne batamukkiriza era baamuntaasaako butaasa nga mu bataasa mwalimu ne Mukyala wange.
Bwe twali mu kitundu kye Kyakabungu era ne nsaba omu ku bakulembeze ajje njogereko eri abantu ekyatujja enviiri ku mutwe kwe kuvaayo omuntu amanyiddwa nga Meeya we kitundu ekyo nga ali mu kawale koomunda, era nandagira nve mu kitundu ekyo kyokka nga nze nkiikirirawo.
Nsaba abakulira Abavandimwe nammwe muveeyo ku neeyisa ya bantu baffe bano, mwami Frank Gashumba ne Paul Ntale akulira abavubuka mu Council For the Bavandimwe mbasaba tukwataganire wamu okusobola okutereeza abantu baffe abo bamanye nti eby’obufuzi ssi lutalo.
Tusaba obukulembeze bwamwe bukkeko wansi mu bitundu bye byalo mwogereko n’abantu baffe abo, ekisooka olulimi lwe bakozesa lukakanyavu, obuyinza balaga bungi kyokka nze n’abantu bange tufuba okwekuuma buli lwe tubasisinkana.
Ndi musajja musirise naye olaba Lutaaya nva mu mbeera wabaawo obuzibu obwamaanyi” Lutaaya bwe yagambye mu katambi akafulumidde ku mikutu emigatta bantu nga atangaaza ku byaliwo.
Ku nkomerero ya ssabiiti ewedde abamu ku bakulembeze ba Bavandimwe baavayo ne batiisatiisa okutwala Lutaaya mu mbuga z’amateeka oba okufuna omuntu amwesimbeko bamuwagire nga bagamba nti yabanyiiza olw’ebigambo bye yayogerera mu bitundu bye Kkooki bye baagamba nti byali bisiga obukyayi eri e Ggwanga lyabwe
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com