ABABAKA Muhammad Segiriinya owa Kawempe North ne munne Allan Sewanyana owa Makindye West ebigmbo bikyabononekedde, Kkooti ekola ku misango gya naggomola bw’eyongezaayo okuwulira okusaba okweyimirirwa okutuusa omwaka ogujja.
Kitegerekese nti bano baakuddizibwa mu kkoti eno nga 20. February.2023 omulamuzi asobole okuwulira okusaba kwabwe okwatekebwayo bannamateeka baabwe okuli Erias Lukwago ne Samuel Muyizi nga bawakanya kkooti okukandaliriza abasibe baabwe okumala ebbanga eddene mu kkomera e Kitalya.
Bannamateeka baalaga mu kusaba kwe baateeka mu kkooti nti abantu baabwe baali bamaze ebbanga elisukka mu myezi omukaaga nga tebawozesebwa, kye bagamba nti mu mateeka baba balina okufuna okweyimirirwa.
Bayongerako nti abasibe balwadde era nga obulwadde baabujja ku ngeri gye bakwatibwamu mu kkomera gye bali ne bagamba nti beetaaga okufuna obujjanjabi obwenjawulo nga bali wabweru.
Oludda oluwabi lugamba nti ababaka bano wamu ne banaabwe abalala abali mu kkomera e Kitalya bavunanibwa emisango gy’obutemu obwakolebwa mu bitundu bye Masaka, era nga kigambibwa nti bano beetaba mu kutta omutuuze Joseph Bwanika eyali abeera mu Gombolola ye Kibinge mu Disitulikiti ye Lwengo nga 12. August.2021.
Era kigambibwa nti nga 23.August.20021 ababaka wamu ne banaabwe batta Francis Mugerwa Kiiza, Sulaiman Kakooza ne Tadeo Kiyimba abaali abatuuze ku kyalo Ssettaala mu kibuga kye Masaka.
Kigambibwa nti era ababaka baateekanga sente mu butemu obwakolebwa mu kitundu kye Masaka mu mwaka gwa 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com