OMUBAKA omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule Mary Begumisa alaze obwetaavu eri bannnaSembabule ne bannaUganda bonna okukola ennyo okubaako ettafaari nabo lye bateeka ku Ggwanga lyabwe sso ssi kutunulira bakulembeze bokka kyagamba nti kigenda kutwala Uganda mu maaso.
Begumisa agamba nti singa buli muntu akola omulimu gwe okusinziira ku buvunanyizibwa bwe naddala mu maka nga asomesa abaana, okukuza abaana obulungi nga batya Katonda, okukuuma obutonde bwe Nsi nga basimba emiti, okulambika abaana mu neeyisa ey’obuntu bulamu ne bilala kijja kuyamba nnyo ku nkulakulana ye Ggwanga naddala mu kiseera kino nga Uganda ewezezza emyaka 60 egy’obwetwaze.
Okwogera bino yabadde ayogerako eri e Ggwanga ne bannaSembabule ku Sande mu bubaka bwe obw’amefuga ge Ggwanga eg’emyaka 60.
“Ekyamazima buli muntu kati yetaaga okweyagalira mu Ggwanga lye yadde nga waliwo ebitanatambula bulungi, naye nammwe mwetaaga okugolokoka okutambula mubeeko bye mugatta ku nsi yammwe, musimbye emiti gye mwanyi emeka? Musimbye emmere ebamala mu maka gammwe, temulinda ffe bakulembeze kubanga ffenna buvunanyizibwa bwaffe okukulakulanya ensi yaffe”
Tukkiriza nti Gavumenti elina ky’ekoze yadde nga wakyaliwo ebigaanye naye tukwate mpola kubanga ne Roma teyazimbibwa mu lunaku lumu, amassomero, amalwaliro enguudo ne bilala ebyo mubilekere ffe abakulembeze tulwane bikolebwe, naye nammwe mukole omulimu gwammwe tusobole okukulakulana” Begumisa bwe yagambye.
Yagambye nti abakulembeze n’abantu ba bulijjo balina okutambulira awamu wakati mu kwewa amagezi okusobola okugonjoola ebitatambudde bulungi ate n’okukuuma ebikoleddwa saako n’okulaba butya ebigaanye bwe biyinza okukwatibwako bitambule.
Yayongedde okukubiriza abantu be Sembabule okwongera okulima emmwanyi okulunda saako n’okulima emmere bye yagambye nti bye bimu ku bigenda okubakulakulanya
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com