OMUBAKA omukya owa Disitulikiti ye Sembabule Mary Begumisa atandise kawefube agendereddwamu okwongera okuzzaamu amaanyi abayizi baawerera mu massomero ag’enjawulo amaanyi nabo batandike okukola okusobola okweyimirizaawo.
Kawefube ono yamutandikidde mu gombolola ye Lwebitakuli nga eno abayizi abaganyulwa mu ntekateeka ye kitongole kya Mary Begumisa Foundation mu massomero ag’enjawulo yabagabidde ebisolo ebilundwa omuli embizzi, embuzi saako n’obugaali mu maanyi gandi mu kifuba bubayambeko mu ntambula nga bagenda ku massomero.
Omubaka Begumisa yagambye nti mu nteekateeka eno ayagadde okuwa abayizi eggaali okubayambako mu ntambula nga bagenda ku massomero gye basomera songa zzo Embuzi n’Embizi azibawadde okulaba nga bazirunda bazizaazisemu okusobola okufunamu ensimbi ezisobola okubayambako naddala okugula bye beetaaga ku massomero.
“Abaana bano njagadde mbawe eddobo nabo batandike okwevubira, kubanga nina ekitundu kinene kye nkiikirira nga nabagaala obuyambi bayitirivu nnyo, ye nsonga lwaki nsazeewo okubayamba naddala okubayigiriza okwekolera kubanga yadde bato naye balina okuyiga okwekolera n’okuba ab’obuvunanyizibwa mu bitundu gye babeera.
Gye Buvuddeko abayizi bano babadde bafuna obuzibu bunene mu bye ntambula nga bagenda saako n’okudda okuva ku massomero, naye kati ekizibu ekyo nkisalidde amagezi mbawadde obugaali obunabanguya ku makya saako n’olweggulo nga bakomawo.
Ebisolo bino mbasaba mubilabirire bulungi mubiwe eby’okulya mu budde bisobole okuzaala obulungi mufunemu ensimbi ezibalabirira saako ne bakadde bammwe.
Ngenda buli kadde kubalambula okulaba wa we mutuuse kubanga saagala muzannyo mu pulojekiti eno,, kye mmanyi bwe munabilabirira obulungi ebisolo bino enyingiza y’omu maka mukadde waffe Pulezidenti gyalwanirira ejja kuba elabise e Sembabule.
Abazadde nammwe mbasaba mufeeyo okuyambako ku baana bammwe nga mulabirira ebisolo bino saako n’okubijjanjaba kubanga tebigenda kukoma ku kuyamba baana bokka wabula nammwe mujja kufunamu” Begumisa bwe yategezezza nga abibakwasa.
Bazadde babaana bano okwabadde abali mu Pulayimale, Secondary n’abalala abali ma ttendekero ag’awaggulu beebaziza omubaka olw’okuyamba ku bayizi kuba bali bubi nga tebalina bisale by’amasomero era bamusuubizza nga byona bwebagenda okubirabirira n’okubikwata obulungi.
Abayizi abaafunye obuyambi beebazizza omubaka ne beeyama okusoma ennyo n’obutamuswaza
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com