Ebya kkansala David Seremba akiikirira e Gombolola ye Kakuuto ku lukiiko lwa Disitulikiti ye Kyotera eyasangiddwa lubona n’omuyizi Jesca Mutesi 18 nga beesa empiki z’ekikulu by’ongedde okulanda.
Abakulira essomero lya basawo elya Rakai community school of nursing basazeewo okugoba omuyizi nga bwe beeyongera okwetegereza ensonga zino.
Kigambibwa nti Seremba ono nga wa kibiina kya National Unity Platform gye buvuddeko yasangibwa mu bisulo bya bayizi ebye ssomero nga yeggalidde n’omuyizi Mutesi, era nga abakulira eby’okwerinda bye ssomero bawalirizibwa okumukaka okuggulawo n’asooka ne yerema, wabula oluvanyuma ne bamugguzaawo ku buwaze.
Okusinziira ku mukuumi we ssomero yategeeza nti yatemezebwako abamu ku bayizi abaalaba nga Seremba yesogga akasenge ka muyizi munaabwe era ne baggalawo mangu, ekyabaletera okutya ne basalawo okutemya ku bakuumi.
Mu kuggulawo omuselikale yasanga Seremba ne Mutesi bali bukunya era oluvanyuma Seremba yemulula nadduka ensonga ne zongerwayo mu bakulira essomero abasazeewo okusooka okugoba Mutesi.
Okunoonyereza kwayongedde okulaga nti Seremba yakulira essomero lya St. Josaphat primary school, elisangibwa e Kabonera mu Masaka nti era ono yabadde awerera Mutesi okuva mu secondary olw’okuba abazadde baali tebesobola bulungi.
Kigambibwa nti mu biseera by’oluwummula Mutesi abadde akola mu limu ku maduuka ga Seremba agatunda bbiya elisangibwa e Kakuuto, nga eno gyabadde ava nga okusoma kutandise nagenda ku ssomero, era nga n’abakulira essomero lya basawo babadde bamanyi nti Mutesi mwana wa Seremba.
Mu kiseera kino Mutesi ali mu maka ga bazadde be ku kyalo Kanamiti mu Kakuuto nga bwalindirira okusalawo okwenkomeredde okuva mu kakiiko ke ssomero akakwasisa empisa, kasalewo oba azzibwa mu ssomero oba agobwa mu butongole.
Guno ssi gwe mulundi ogusoose nga Seremba yeetaba mu bikolwa bye bimu, nga ne gye buvuddeko Poliisi ye Mutukula yamuyitako ku bigambibwa nti yaliko muka musajja gwasigudde mu bitundu bye Kyotera.
Abantu ab’enjawulo era bazze beemulugunya ku mukulu we ssomero ono, ku bigambibwa nti yesibira mu offiisi n’abayizi be ssomero lye ab’obuwala natandika okubalaga ebifananyi eby’obuseegu.
Kawefube w’okwogerako ne Seremba agudde butaka olw’amasimu ge agamanyiddwa okuba nti gaggiddwako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com