EMBEERA ya mwana muwala Kabashambo Sofia 16 mu kiseera kino eyungula ezziga, oluvanyuma lw’okusobezebwako n’afuna olubuto n’oluvanyuma n’akizuula nti yafuna obulwadde bwa mukenenya.
Ono mu kiseera kino abeera mu Akright Estate ku luguudo lw’entebbe, nga mu myaka emito gyalina y’afuuka dda maama kubanga alina omwana ow’omwezi ogumu.
Amanya gange nze Sofia Kabashambo, nina emyaka 16, Nzaalibwa ku kyalo Kinuuka mu Lyantonde, Kitange ye John Samuel Mushambo ate maama ye Maria Josephine.
Taata yafa nga nina wiiki emu yokka bwe bangamba, maama n’asalawo okunonyayo omusajja omulala era nantwala gye yali abeera ku kyalo Kyakakala mu Lyantonde.
Okusoma kwange nakoma mu kibiina ky’akuna era maama nantegeeza nti ensimbi ze ssomero zaali ziweddewo.
Wano kitange maama gye yafumbirwa yantegeeza nti muviire ewuwe kubanga mu makaage saalinawo mugabo, ne ntambula ne nzira e Lyantonde.
Ku myaka 13 gyokka banfunira omulimu gw’okukola mu maka mu bitundu bye Bukomansimbi gye nakolera emyaka 2 ne nvaayo ne nzira e Lyantonde gye nafunira omulimu gw’okusiika Chapati.
Mbeera nkola omulimu gwange nga mpezezza emyaka 15 ne wajjawo omulenzi ayitibwa Ambrose nga ono akola bwamakanika wa pikipiki mu Lyantonde n’atandika okunsaba omukwano kye nagaana kubanga nali nkyali muto.
Olunaku olumu nali nzirayo gye nsula omulenzi nansaba antwaleko era ne nzikiriza ekyaddirira kwe kunkyamya mu kasiko n’ansobyako, oluvanyuma nakizuula nti ndi lubuto ne mubuulira nantegeeza nti siddamu okubyogerako.
Nga wayise akaseera katono nafuna omulimu omulala mu Kampala ne nvaayo e Lyantonde.
Bakama bange baagenda okulaba nga embeera ekyuse kwe kumbuuza era ne mbategeeza byonna ebyaliwo, ne batangoba kwe kusalawo okundabirira okutuusa bwe nazaala.
Nkizuula nti Nina siliimu
Omu ku bakama bange Monalisa Tahabwasi yasalawo antwale mu ddwaliro lye Entebbe Grade B nsobole okunywa eddagala wakati mu kukebera omusaayi we bakantemera nti nali nina ekilwadde kya mukenenya.
Mu kusooka kyampisa bubi kyokka bakama bange ne bangumya saako n’abasawo era ne bategeeza nti ngenda kuzaala bulungi n’omwana ajja kuba mulamu bulungi.
Ekilungi nti bakama bange bakkiriza okubeera nange era ne wavaayo omuzira kisa amanyiddwanga Dennis Byaruhanga abeera mu Ggwanga lya Canada era nga yakulira ekitongole kya Haguruka Mtoto ne yeyama okunsasulira ensimbi zonna ez’obujjanjabi obwali bwetaaagisa mu kiseera ekyo.
Bwe namala okuzaala nga nzadde bulungi era mwami Byaruhanga ne yeyama okulabirira omwana wange nga mu kiseera kino talina kyajula.
Byaruhanga agamba nti yafuna amawulire agakwata ku Kabashambo okuva ku b’oluganda lwe, mu kusooka yenyamira kyokka mu mutima gwe naasalawo okubaako kyayamba nga ayita mu kitongole kye ekiyamba abaana abatalina mwasirizi ekya Haguruka Mtoto Foundation, era naasasula ebisale byonna eby’eddwaliro.
“Nakilaba Nga omwana ono omuto yetaaga okuyamba engeri gye kiri nti omusajja eyafunyisa Kabashambo olubuto talabikako, ne nsalawo omwano ono mutwale abe wange mulabirire kye natandika okukola okuva lwe yazaalibwa” Byaruhanga bwe yategezezza.
Abasawo abakugu kye bagamba.
Dr. Anthony Kkonde nga ono yaakulira eby’obulamu mu Munisipaari ye Mukono yategezezza nti Kabashambo asobolera ddala okufuna obulamu obweyagaza kasita akozesa eddagala nga abasawo bwe bagamba.
“Omuntu okuba ne kilwadde kya mukenenya tekitegeeza nti aba agenda kufa, kale Kabashambo tumuwa amagezi aleme okwelarikirira, alye bulungi naddala ebibala, akole dduyiro ne bilala ajja kufuna obulamu obweyagaza.
Tusaba ne Poliisi okufaayo okulaba nga ekwata omusajja eyafunyisa omwana omuto olubuto saako n’okumusiiga obulwadde avunanibwe mu mbuga z’amateeka” Dr. Kkonde bwe yagambye.
Omuduumizi wa Poliisi ye Lyantonde Scovia Birungi bwe yatuukiddwa yawadde amagezi abalabirira omwana Kabashambo mu kiseera kino okuggulawo omusango ku poliisi ebali okumpi, noluvanyuma bamutegeeze asobole okukwata Ambrose agambibwa okukabasanya omwana omuto avunanibwe mu mbuga z’amateeka.
Ekibonerezo ekisembayo mu mateeka ga Uganda eri omunti akabasanyiza omwana omuto saako n’okumusiiga siliimu asibwa obulamu bwe bwonna nga kwotadde n’okuwanikibwa ku kalabba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com