AKAKIIKO ke by’okulonda mu Ggwanga kalabudde nti tekagenda kwongezaayo kwewandiisa kwa bantu abagenda okwetaba mu kulonda kw’obukiiko bwa bakyala.
Okwewandiisa kuno kwatandika gyebuvuddeko nga kukomekkereza leero, ab’ewandiisizza bokka be bagenda okwetaba mu kulonda saako n’okwesimbawo ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala ku bukiiko bwe byalo.
Omwogezi wa kakiiko ke by’okulonda Paul Bukenya ategezezza nti ebbanga ely’atekebwawo okusobozesa abakyala okwewandiisa limalira ddala nga tewali nsonga lwaki ly’ongezebwayo.
“Abo ab’ewandisizza bokka be bagenda okulondebwa n’okulonda era ebbanga lye twateekawo limala, ebirango ne ntekateeka zonna ze tukoze nga akakiiko ke by’okulonda tulabye nga biyambye abakyala okugenda mu bifo we balondera okutereza enkalala zaabwe” Bukenya bwategezezza.
Obukiiko bwa Bakyala bwe bugenda okusooka okulondebwa oluvanyuma n’obukiiko bwe byalo nabwo bugobererwe omwaka ogujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com