Abaalondebwa okukulira akakiiko akagaba e mirimu mu Disitulikiti ye Mukono bakyalemeddwa okuyingira zi offiisi zaabwe okutandika okukakkalabya emirimu, nga kigambibwa nti entabwe eva ku sipiika kulemererwa kuteeka mikono ku biwandiiko bye biteeso ebyayisibwa mu kkanso eyatuula nga 23.05.2022.
Mu lukiiko luno ba kkansala awatali kwesalamu baayisa amannya ga bantu 4 nga bakulemberwa Badru Semakula, Auther Blick nabalala, kyokka nga wasooka kuberawo okusika omuguwa wakati wa Ssentebe Rev. Peter Bakaluba Mukasa ne Sipiika Betty Nakasi nga nga entabwe yava ku muntu ow’okutaano eyali asuuliddwa Ssentebe.
Okuva ku lunaku olwo obutakkanya wakati wa Ssentebe Bakaluba saako n’omukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti Betty Nakasi bweyongera, nga kino kyavaako Sipiika obutawereza mannya mu minisitule ye bye mirimu (Public service Ministry) gatunulwemu okulaba oba abaalondebwa basaanidde n’oluvanyuma batandike emirimu gyabwe mu butongole.
Mu kiseera kino offiisi za kakiiko akagaba emirimu ku Disitulikiti nzigale olw’ensonga nti abalina obuvunanyizibwa okuzituulamu okuwandiika saako n’okusunsula abalina okufuna emirimu bakyali bbali.
Kino kileseewo abamu ku bakulembeze okwemulugunya eri omukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti Betty Nakasi gwe bagamba nti alabika alemeddwa okukola emirimu gye, wabula alwana ntalo olw’okuba abantu be yali ayagala bayitewo olukiiko lwa ba Kkansala lwabagaana.
Kkansala Stanely Muwonge akiikirira e Gombolola ye Kyampisi ategezezza nti bbo nga abakulembeze baakola omulimu gwabwe okuteekako olukiiko olugaba emirimu, nti kyokka kibewunyisa okulaba nti n’okutuusa kati amannya g’abantu abaafuna obuvunanyizibwa okukola omulimu ogwo gakyatudde mu offiisi ya Sipiika.
“Tetumanyi entalo e Mukono ddi bwe ziriggwawo kubanga buli kimu kyesibye, abaana baffe baagala okufuna emirimu, omuli Abasawo, abasomesa, ne zi offiisi endala omuli abantu abaawummula, kyokka nga kyetaagisa kakiiko okusooka okubaawo olwo emirimu egyo girangibwe mu mawulire abalina obusobozi bagisabe” Muwonge bwe yagambye.
Sipiika Betty Nakasi bwatuukiriddwa ku nsonga zino ategezezza nti eby’ogerwa ssi bituufu nagamba nti omulimu gwe yagukola empapula n’aziteekako emikono nga kati kisigalidde akulira abakozi okuzitwala gye zirina okulaga.
Akulira abakozi James Nkata ku nsonga eno agambye nti Sipiika bwaba nga yateeka emikono ku biwandiiko yakikola ku lwakusooka wiiki eno ate nga abadde taliiwo nga ali ku mirimu emitongole, naasubiza okudda abitwale gye bilina okulaga.
Okunonyereza kulaga nti Disitulikiti ye Mukono yetaaga abakozi ba Gavumenti abasoba mu 200 nga muno mulimu abagenda okutwala offiisi ez’enjawulo mu Town Councils empya 5, Abasawo abasinga baawummula nga bakuliridde mu myaka saako n’abasomesa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com