Omukwanaganya w’ekibiina kyabakunzi ba Pulezidenti Yoweri Museveni ekimanyiddwa nga YKM Team Thorough Eng Idiri Kizza Kamuntu afudde mukiro ekikesezza olwaleero mudwaliro ekkulu e Mulago. Kamuntu, kigambibwa nti afudde bulwadde bwa sukaali obubadde bumubala embiriizi okumala akabanga.
Yadde nga abadde amanyikiidwa nga omukunzi w’ekibiina kya NRM nankiinku, baabadde akolanabo bakawangamudde nti mukamawaabwe afudde nenyiinke kumutima kulwabannakibiina okumusojjanga olutatadde nga bamulangira amalyansimbi kyebagamba nti babadde bamulanga bwemagge.
Okusinziira ku abadde amyuuka Kamuntu nga saabakwanaganya w’emirimu gye ekibiina Pastor Robert Mbabazi, Kamuntu abadde yeetikka omugugu okuva eri bannakibiina abadde bamuwereza obubaka n’okumukubira amasimu nga bamutiisatiisa okumukolako obulabe kulwensimbi zebagamba nti Museveni yamuwa olwomukungira akalulu. Mbabazi agamba nti yadde nga baakola obuteerekera okulaba nti NRM ewangula akalulu ka 2021, negyebuli eno tebannafuna yadde omunwe gwenusu okuva mukibiina oba eri Pulezidenti Museveni.
Ayogeddeko nti nemukaseera akavannyuma, mukamaawe abadde alombabulombi esente z’eddwaliro nga bazisolooza mubantu kinn’omu awatali buyambi kuva wantu walala wonna. Ono yatulaze ne gulupu ya Whatsapp gyebatonzeewo okusobola okufuna ez’obujjanjabi.
Wabula yayongeddeko nti wakati mukusoomozebwa okutenkanika, Kamuntu asigadde n’omukwano ogwekimmemette eri ekibiina kye ne Pulezidenti Museveni okutuukira ddala kusaawa esembayo.
Kamuntu yasinga kwaatiikirira mumwaka oguwedde nga akakalabya emirimu gya Team Thorough egyagendererwamu okuzza obuwagizi bwa Pulezidenti Museveni waggulu obwaali bugenze bukendeera okuva mumwaaka gwa 2011 ne 2016.
Omugenzi abadde yakuguka mubya tekinologiya okuva mu kibuga Beijing ekya China. Wakuziikibwa kukyaalo Nyanga, mu gombolola ye Kihihi mu Kanungu.
Alese namwandu omu nebamulekwa bana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com