ABANTU abawerera ddala 57 mu kkanisa ya Mt Lebanon Christian Center Church esangibwa mu kibuga Mukono be batikiddwa ku ddaala lya certificate oluvanyuma lw’okumaliriza omusomo mu by’obukulembeze n’ebyokwekulakulanya (Certificate in Leadership Development) okuva mu ttendekero lya Christian Restoration Bible College.
Bwabadde abatikkira ku mukolo ogubadde ku Mt Lebanon Christian Center Church, akulira ettendekero elyo Omutume Dr John Bunjo agambye nti nga abalokole babadde bemalira nnyo mukubuulira enjiri wamu n’okukuumira endiga mu ma kkanisa ne batabawa bya kwekulakulanya ekintu ekibakuumidde mu bwavu okutuusa lwe baasalawo okuvaayo ne nteekateka bweti abantu basobole okubaako ne kyebakola oluvanyuma lw’okutendekebwa.
” ezikiriza nyingi zituyiseko ne zibaako byezikola ebyamagezi saako n’okwekulakulanya naye ffe buli kaseera tubeera mu kusaba n’akwogera nimi ezitalina gye zitutwala, kye kiseera tubeeko byetukola.” Bwatyo Omutuume Bunjo bwategezezza.
Ono agenze mu maaso nawa abasumba be kkanisa z’abalokole amagezi okukomya okulowoleza buli kadde mu kugaziyaga amakanisa n’okulowolezanga mu kufuna abagoberezi abangi, naye bafube okulaba nga bayiiya saako n’okufumitiriza ku biki eby’enkulakulana bye bagenda okutandiikawo ku makanisa gaabwe ebsobola okuyamba abakkiriza saako n’ebitundu ebibetoolode.
Yye Omusumba w’ekanisa eno Samuel Lwandasa yagambye nti ku mulembe guno okusoma kwafuuse kwa buwaze nti kuba omuntu atasomye era tasobola kubulira njiri olw’ensonga nti abatasobola nakusoma bayibuli.
Omu kubasomeseza abantu abo Robert Yowu agambye nti oluvanyuma lw’okukizula nti abalokole abasinga bakyetwala kwekusalawo okunonya engeeri gyebabasa wansi w’obukulembeze okusoboola okubalungamya obulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com