MUKUUMA ddamula w’oBwakabaka bwa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti emu ku nsonga esinze okusiba obwavu mu bannaUganda kwe kuba nti abazadde bakuza bubi abaana baabwe.
“Ekyejo ekiyitiridde mu wakati mu baana nga bakuzibwa kibi nnyo, kubanga omwana akula nga talina ky’amaanyi kyalowooza kubaako kye yekolera nga alowoleza mu by’abugagga bya bakadde be
Era ndabye amaka ga bagagga bangi agasaanyewo oluvanyuma lwa bazadde okufa abaana ne batunda eby’obugagga byonna ne basigala nga baavu lunkupe, ne mirimu egyakolebwa bakadde baabwe teri addamu kugiwulizaako” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.
Okwogera bino abadde ku NTV mu pulogulaamu mwasuze mutya nga anyonyola emyaka 9 gyamaze nga akutte ddamula.
Yenyamidde olw’abavubuka abatunda eby’obugagga bya bakadde baabwe omuli ne ttaka ne bagula Boda Boda, nagamba nti egimu emirimu ssi gya nsibo era kizibu okugijjamu obugagga naddala nga omala kutunda kyakulekerwa mukadde wo osobole okuguteekawo.
Yanyonyodde nti nga yakagenda ku bwa Katikkiro yatandikira ku kusonda ttaffaari era nti abantu bangi abawayo ensimbi era bingi ne bikolebwa mu bwaKabaka nti kyokka embeera eno yatuuka ekiseera nga elina okuvaawo abantu batandike okuyiga okwekolera nga kye yava yatandika enkola ye mmwanyi terimba.
“Enkola eno yatandikibwa Ssabasajja yenyini kubanga yalaba nga abantu be beetaaga okutandikawo omulimu omwangu mwe bajja ensimbi nga bakozesa ettaka kwe bali, basobole okujjamu obugagga obw’ensibo kubanga omuti gwe mmwanyi gumala emyaka 100 nga ogufunamu singa oba ogulabiridde bulungi.
Singa abantu mu Buganda baba balimye emwanyi zaabwe bulungi era nga zilina n’akatale akalungi bajja kuba basobolera ddala okuyimirizaawo obwaKabaka bwabwe saako n’okulabirira amaka gaabwe gwe mulamwa kwe tutambulira, era twebaza abakoze ekyamaanyi okulaba nga babunyisa saako n’okuteekesa mu nkola omulanga gwa Ssabasajja.
Tusaba Gavumenti eteekewo embeera esobozesa okutekawo empuliziganya saako n’okwongera okwetegereza endagaano eyakolebwa ne musiga nsimbi ku mmwanyi” Mayiga bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com