Ab’ekitongole ky’omusayi ekya Nakasero Blood Bank balaajanidde bannayuganda bafeeyo nnyo okujjumbira okugaba omusaayi nti kuba gw’etaagibwa nnyo mu bungi okusobola okutaasa obulamu.
Omukugu mu kitongole ekyo Moses Turyamureba yategezezza bino bwe yabadde ku kkanisa ya Mt Lebanon Christian Centre church esangibwa mu kibuga Mukono wakati mu ntekateeka mwe baagabidde omusaayi n’ategeeza nga bwe betaaga omusaayi mu bungi nti kuba abantu abagwa mu biti eby’enjawulo omuli abalwadde ba cancer, abagwa ku bubenje, wamu nabalala bagwetaaga nga n’olwekyo gulina okuwebwayo okutaasa obulamu bwabwe.
Turyamureba agamba mu kiseera kino eky’oluwummula bo ng’abakola mu kitongole ekigaba omusaayi basanga okusomozebwa kungi, bwekituuka ku kufuna omusaayi kuba mungi baguggya mu massomero nga mu kiseera kino bali mu luwummula ate bantu ba bulijjo bakolubo okuwaayo omusaayi.
Yye eyakuliddemu entekateeka eno era nga ye musumba wa Mt Lebanon Samuel Lwandasa yakunze abantu okwenyigira mu kugaba omusaayi kiyambeko okumalawo ebula lyagwo mu malwaliro nti kubanga kino kiwaliriza amalwaliro okugutunda songa tekyetaagisa.
Livinstone Matovu akulira eby’obulamu mu kkanisa eno yakukulumidde abasawo ab’enyigira mu bikolwa by’okutunda omusaayi kyokka nga abantu bawayo gw’abwerere n’asaba ekyo kikyusibwemu okusobola okutaasa obulamu bwa bannaNsi.
Liita ezisoba mu 67 zezakuganyiziddwa okuva mu bantu, mu nteekanteeka eno ebadde ey’olunaku olumu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com