OMUYIMBI Catherine Nabuule Kusasira gaakaaba gaakomba oluvanyuma lwa Poliisi ye Katwe okusazaamu ekivvulu kye yabadde ategese e Kanaaba ku lwe Busabala mu Makindye ku Easter Monday.
Ono abadde omunyiivu ategezezza nti yakoze byonna ebyetaagisa era ne bbaluwa ekkiriza ekivvulu kye yabadde nayo nti kyokka ekyamwewunyisizza ye Poliisi okujja ku ssawa 3 ez’ekiro n’ekyankalanya abadigize era ne basaba baamuke ekifo nti kubanga ekivvulu kyabadde kimenya amateeka.
Yagambye nti yasasudde sente ku poliisi enkulu e Naggulu era ne bamuwa olukusa agende mu maaso ne kivvulu, nti kyokka bwe yagaanye okuwa sente akulira poliisi ye Katwe sente kwe kusalawo okugaana ekivvulu kye.
“Olaba mulemesa nze owa NRM ate olwo ab’oludda oluvuganya ndowooza mujja kutta batte” Kusasira bwe yagambye.
Yayongeddeko nti tagenda kusasula kintu kyonna ku ebyo ebyayononese wakati mu kavuvungano, nagamba nti byonna Poliisi yerina okubisasula kubanga ye yaleese akavuyo.
“Njagala Omuduumizi wa Poliisi ayingiremu mu nsonga zino, kubanga embeera y’okuyisa abawagizi ba Pulezidenti Museveni bwe bati ssi bilungi” Oyo Afande Kamugira yeraga bwerazi kubanga ssi yasoose mu kifo ekyo” Kusasira bwe yakolimye.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire yategezezza nti ensonga za Kusasira n’okumulemesa ekivvulu bakyazetegereza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com