OMUMUYUKA wa RDC wa Disitulikiti ye Buvuma omuggya Patrick Mubiru amanyiddwa ennyo nga (Wacity) alabudde bannabyabufuzi nti tagenda n’omulundi n’ogumu kukolera mu ntalo ezisibuka ku by’obufuzi, wabula agenda kulaba nga akola emirimu awatali kusosola mu bantu bonna.
Bwabadde akwasibwa offiisi ye mu butongole okuva ku Juma Kigongo abadde mu kifo ekyo, Mubiru agambye nti agenda kulaba nga abantu be buvuma bafuna obuwereza obulungi mu kiseera wagenda okubeera mu offiisi, era nalabula abanyigiriza abantu naddala ku ttaka nti bubakeredde.
“Njagala nfuuke eky’okulabirako mu Uganda nga offiisi yange ya bantu bonna era nga buli ayagala okundaba andaba mu buntu ssi kuntumira bantu, kubanga buli omualina ebizibu bye ate nga ne nkolako yaabyo yanjawulo nnyo.
Nze sili munnabyabufuzi Pulezidenti ye yantumye okumukiikirira saako n’okulondola enkola ye mirimu, mu mbeera eyo eby’obufuzi ebyawula yawula mu bantu sigenda kubyetabamu
Ngenda kukolerera ekibiina kyange ekya NRM saako n’okutuukiriza emirimu gya mukadde wange Pulezidenti Museveni awatali kusojjebwa ku luwonzi” Mubiru bwe yagambye.
Ye Juma Kigongo abadde omumyuaka wa RDC yebazizza nnyo banna Buvuma olw’okumukuuma emyaka 5 nga akolera mu kitundu kino nagamba nti e Jinja Jalaze nayo agenda kukola obutebalira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com