BYA BRIAN MUGENYI
Mu bufunze
Erinnya: Jude Muleke
Emyaka: 43
By’akola: Pookino, mulimi
Abazadde: Gabriel Ddungu ne Simplicia Natembo
Omukyala: Sylvia Namagembe
Gye yasomera: Naluzaali Primary School, Bukalasa Major Seminary ne Uganda Martyrs University Nkozi
Kkiraabu: Chelsea
Abazannyi abénkizo
Petr Cech
Didier Drogba
Robert Huth
Carlton Cole
Arjen Robben
Gren Johnson
Jude Muleke, ye Pookino omuggya eyadidde Vincent Mayiga mu bigere. Abasibuka e Buddu, eno woofiisi bagimanyi bulungi. Pookino, yáyambako Kabaka okulamula essaza lyé Buddu.
Bakungu batono nnyo abaweereza e Mengo nga bamanyi ebyémizannyo. Ndowooza lwakuba bangi Omutanda abawa obwami nga batuludde mu myaka. Okwawukanako na bano. Pookino Mulele musajja munnabyamizannyo yadde nga si waakwemulisa ngábavubuka bénnaku zino. Muwagizi wa Chelsea, ezannyira mu English Premier League. Wammanga, akulaga engeri gye yajja okugiwagiramu.
Drogba amuleeta ku Stamford Bridge
Mu sizoni ya 2005, Chelsea yali eyokya. Mu kiseera kino, Chelsea yali wansi w’omutendesi Jose Mourinho era Muleke we yatandikira okugiwagira. Ensonga eyamuwagiza kkiraabu eno, ye muzannyi Didier Drogba eyajojobyanga ttiimu ya Arsenal, ebiseera ebyo, eyali wansi w’omutendesi Arsene Wenger.
Drogba, 41, yali muteebi kayingo, bwe yayabulanga, nga kkipa ne bwe baba bamutenda, ateekwa okuteeba. Pookino ayongerako nti Drogba yali mukulembeze mulungi eri banne era baamuwanga ekitiibwa. Pookino agamba nti Mourinho buli lwe yassanga Drogba ku lukalala lwábazannyi abagenda okutandika akazannyo, ngámanyirawo nti endiba egenda kunyuma. Muleke agamba Drogba yamwagala nnyo era yawalirizibwa n’okutandika okwambala emijoozi gya Chelsea ng’emabega kuwandiikiddwako Drogba.
Kyokka yadde Drogba ye yasinga okumusika omutima, nómukwasi wa ggoolo Petr Cech yamumatira nga kwótadde nábazannyi abalala nga: Robert Huth ne, Carlton Cole, Arjen Robben ne Gren Johnson.
Pookino yandiba omutuufu, okutwaliza awamu, Drogba obulamu bwe bwonna, omupiira yasinga kuguzannyira kkiraabu ya Chelsea era ng’awamu, yabazannyira emipiira 254 n’abateebera ggoolo 104. Drogba yatandika okuzannya omupiira ku myaka 18 mu kkiraabu ya Le Mans eyakazibwako erinnya lya ‘The Blood & Golds’ mu liigi ya Bufalansa. Muleke agamba nti bwe yejjukannya ennyo enzannya ya Drogba, námugeraageranya nábazannyi abali mu kkiraabu nga bavuya buvuya, ayongera okumusubwa.
Uefa Championa League wa 2012 yamukolera
Ekimu ku bintu Muleke by’atalyerabira ku muzannyi ono, ye ggoolo gye yateeba FC Barcelona mu Uefa Champions League wa 2012 eyakutula omutima gw’omutendesi Tito Vilanova. Pookino agamba nti ne gye buli kati, alabika taddanga ngulu.
Muleke agamba nti obutafaananako na bazannyi balala Abafirika, abatuuka e Bulaaya ne bakola amalala, ye Drogba yamanya ennaku ye era n’ajiganyulwamu. Annyonnyola nti alabyeko ku bazannyi abafunye omukisa okuzannyira ku kkiraabu ennene wabula ne batasobola kweyubula kimala nga Drogba.
Wano amatira Onyango
Ku butaka, Pookino talinaawo kkiraabu ya nkalakkalira kyokka agoberera nnyo omukwasi wa ggoolo Denis Onyango, Mamelodi Sundowns, eya South Africa akwatira ne Uganda Cranes. Agamba nti Onyango, 34, ategeera kye bayita ggoolo ng’ate musajja mukulembeze mulungi.
Gye buvudeko, ekitongole kya International Federation of Football History and Statistics, mu 2016, kyalonda Onyango ng’omukwasi wa ggoolo ow’e 10 mu nsi yonna. Ng’omuzannyi, Onyango naye oyinza okugamba nti buli kimu akikoze. Muleke agamba nti mu kiseera kino, Uganda erina abakwasi ba ggoolo bangi: Charles Lukwago, Salim Jamal, Robert Ondongkara, James Alitho ne Joel Mutakubwa kwossa n’abalala naye Onyango tannafuna amuvuganya.
Mu biseera Onyango we yazannyira kkiraabu ya SC Villa, Muleke agamba nti lwe yatandika okwagala ennyo Onyango. Eno yali sizoni ya 2004-2005 we bawangulira ne liigi n’obubonero 67. Ebiseera ebyo Villa-Joogo yali eyokya nga toyinza kunyumya ku SC Vipers oba KCCA eziriko mu kiseera kino.
Gye buvuddeko, Mark Anderson, eyaliko omukwasi wa ggoolo ya Mamelodi Sundowns, yatenderezza omutindo n’ekitone kya Onyango. Anderson yagamba nti Onyango muzannyi ayina ekitone eky’owaggulu ate nga mukkakkamu naddala ng’ali mu kisaawe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com