ABAKULEMBEZE ba Division ye Mukono badduse bukubirire okuyoola kasasiro abadde yafuukira ebyalo Ngandu ne Kitete ekyambika olw’okuwunya ekiyitiridde saako n’okuziba ekkubo.
Kino kiddiridde abatuuze n’abamu ku bannaMukono okuva mu mbeera ne bakangula ku maloboozi nga balaga obutali bumativu olwe kkubo lyabwe eliva ku kyalo Wantoni nga lidda mu Kirangrira okuzibwa Kasasiro saako ne kivundu ekibadde kisusse ogw’omulamuzi.
Abantu ab’enjawulo okuva ku byalo ebirinaanyewo babadde buli kintu basuula omwo nga nabatuuze bategezezza nti embwa ezifudde saako ne mbuto ezivuddemu byonna bibadde biggwera okwo ne basula nga tebebase olw’ekivudu.
ku lw’okutaano Ssentebe wa Division Peter Kabanda, Kkansala akiikirira Ngandu ne Kigombya Mike Segawa saako n’olukiiko olw’okuntikko olufuga Mukono Central Division bonna basitukiddemu ne bagenda okulaba ogubadde ne kidiridde kwe kutumya ebimotoka bi wetiiye saako nebisomba kasasiro okumutwala gyalina okulaga.
Kabanda agambye nti baawulidde omulanga gwa batuuze era ne basitukiramu okujjawo kasasiro ono, wabula nagamba nti kino ekifo ssi kyakuyiwamu kasasiro nga ekifo ekitongole kiri ku kyalo Kati kkoro, nti era abakikola bakikola mu bukyamu.
Agambye nti ettaka lino lyatekebwawo kubeeramu limbo we baziika abantu ababa babuliddwako abantu baabwe, era nalabula ababadde bateekawo kasasiro okukikomya amangu ddala.
Ye kkansala Mike Segawa yategezezza nti bakyalina okusomozebwa kunene olw’abantu abatakyayagala kukuuma kasasiro ne basalawo okumuyiwa mu kkubo kyagambye nti kibadde kivuddeko oluguudo okuziba.
“Kuluno tetugenda kuddamu kukkiriza bantu kuyiwa kasasiro mu kkubo kubanga tukizudde nti n’omulala agibwa Wakiso naletebwa e Mukono, tumaze okuteekawo abantu baffe abagenda okukuuma ekifo kino nga gwe banakwata wakuvunanibwa” Segawa bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com