ABAKYALA mu Disitulikiti ye Sembabule bali mu ketalo nga balindirira okwetaba mu bijaguzo by’olunaku lwabwe olw’eNsi yonna olugenda okukwatibwa omwezi ogujja ku kitebe kya Disitulikiti.
Eno abakyala eb’enjawulo abaasalawo kwenyigira mu mirimu egileeta ensimbi bagenda kwolesa ebintu bye bakola saako ne mirimu egyo mwe bajja ensimbi basobole okwagazisa abalala bave mu kulera engalo bakole.
Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Sembabule Omusumba Mary Begumisa ategezezza nti kye baliko kati kwe kulambula emirimu egikolebwa abakyala okwetoloola Disitulikiti yonna, basobole okubateekateka obulungi bagende okutuuka ku lunaku lwabwe nga buli kimu kili bulungi.
Agamba nti abakyala e Sembabule bakola emirimu egy’amaanyi omuli okukuba bbulooka, okulima emmere evaamu ensimbi, obusuubuzi ne bilala ebyakolebwanga abasajja gye buvuddeko.
“Bwe mbadde mpita mu pulojekiti ezikolebwa Abakyala bange, nkizudde nti bakola ebintu ebilungi okuzaama kyokka nga abantu tebabimanyi, eno ye nsonga lwaki navaayo ne bakulembeze banange tukuze olunaku lwa bakyala mu Disitulikiti yaffe ate tweyambise omukisa ogwo okwolesa bye tukola abantu babilabe nga kwotadde ne ndagiriro gye bisangibwa.
Kino nsuubira nti kijja kuyamba nnyo mu nkulakulana yabwe saako ne nyingiza y’omumaka Omukulembeze waffe Yoweri Kaguta Museveni gyasiiba ayimbirira abantu okwenyigiramu.
Abakyala ennaku zino tulina okukomya okulera engalo kubanga omulembe kati gwakyuka, abaali balinda Taata aleete buli kimu tebikyakola naffe tulina okwenyigiramu amaka agasobole okutambula obulungi” Begumisa bwe yagambye.
Yasabye abaami nabo okuyamba ku bakyala baabwe ku lunaku lwabwe, kye yagambye nti kijja kuweesa omukolo ekitiibwa nga abakyala boolesa bye bakola nga n’abaami baabwe webali.
Olunaku lwa Bakyala olw’omwaka guno luli ku mulamwa ogugamba nti Omwenkanonkano olw’aleero olw’okubeerawo kwe nkya okulungi
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com