BYA BRIAN MUGENYI
Ssebamala Mubumpi
Erinnya: Richard Ssebamala
Emyaka: 42
Kiraabu kwafiira: Manchester United ne Express
Amasomero gyeyasomera: St Modesta Bisanje Secondary School, Blessed Sacrament Kimannya, St Benard Nkoni, Buganda Road ne Kanebukuliro. Bukalasa Seminary, Namiryango College ne Jinja College. Kyambogo University ne Dana College, Nebrasa America.
Byakola: Musubuzi ate munabyamizaanyo awamu nebyobufuzi.
Richard Ssebamala musajja mugundiivu nnyo mukisaawe kyeby’obufuzi ne by’emizannyo wano mu Uganda era nga y’emubaka akikirira abataka mu Bukoto Central.
Gyebuvuddeko yasigukulula Edward Kiwanuka Ssekandi muntebbe ye eyali omuwomedde okumala akabanga akanji nga omukiise wa palamenti mukitundu kya Bukoto Central.
Ng’ogyeeko okubanti wano kubutaka omupiira agubaddemu kwoteeka nokutegeka ebikopo by aba musaayi muto nga; Ssebamala Cup, wano mu Uganda muwagizi wa Express.
Wabula bwokozesa ennyonyi yomungereza nogwaako munsi zabakyerupe, Ssebamala muwagizi wa Manchester United.
Ssebamala yazalibwa Buddu kukyaalo Gulama ekisangibwa mugombolola ye Buwunga era awo wabadde asinzirira okutegeka be Ssebamala Cup buli mwaka.
Ekyewunyisa obudde obusinga abumala mubyabufuzi oba olyaawo ne mubizinesi ze ezitali zimu.
Naye bwaaba akunyumiza omukwano gwalina kumuzannyo gwomupiira oyinza ogamba nti yaguzannya ko!
Musajja awuliriza. Mwaniriza, ate teyeryantama. Ssebamala yakulira museminale ye Bukalasa mu Buddu era awo wamuyamba nnyo okutegeera eneyeyisa yomubantu awamu nemirimo.
Ssebamala aweza emyaaka 41. Bazadde be; Cyrus Ndawula ne Betty Nanyonga agamba nti bamuyamba nnyo okusobola okutegeera emirimo nga akyali muvubuka mbula kalevu!
Olwokubanti mukaseera kano ali mukisaawe kyebyobufuzi gyebuvuddeko Ssebamala yatandikawo ekikopo ekyayogeza abantu ebiwanvu nebimpi.
Gamba nti kyasengula nemisota minji ejjali mukikande ekyasambulwa okusobola okutekawo ekisaawe awazanyibwa omupiira gwakamalirizo.
Omupiira ogwo gwaliko nomulangira Wasajja kwoteeka nabakungu banji okuva mugavumenti ya Kabaka Mutebi.
Ssebamala anyumya nti Express ajiwagiridde okumala akabanga akawerako. Mukajoozi ke akamyuufu Ssebamala yayambala nga nalumba Wankuluku okusobola okwota buliro emipiira gya Express.
Mubiseera bya Patrick Kawooya omugenzi Ssebamala agamba weyatandikira okuwagira Kkiraabu eno. Kyokka omuzannyi George Ssemwogerere eyaliko omuzannyi awamu nomutendesi wa kkiraabu eno gyebuvuddeko yeyamwagaza ttiimu eno.
Omupiira yaguwangira nga ekiro ne misana. Awaka ne kumulirwaano Ssebamala yabanga wa mupiira. Musajja mukakamu nga anyumya. Ate kusomero yayaniriza nga buli omu. Kino kyamuyamba nnyo okutegeera ensi awamu nekisawe kyebyemizannyo kyagamba kikolebwa bantu.
Ssebamala agamba nti George Ssemwogerere omupiira yaguzannya nnyo. Express yebiseera ebyo yali tewoneka. Bazannya nga omupiira ne nkwenge gyeziri mutaka nezibakubira emizira.
Wabula omupiira wadde nga yaguwagira nnyo ku kkiraabu ya Express Ssebamala kimu bibiri annyumya Manchester United.
Ayagala nnyo kkiiraabu eno. Agamba nti wansi womutendesi Alex Ferguson Ssebamala yaggwa mumukwano ne kkiraabu eno. Abazannyi banji Ssebamala bayogerako naye David Beckam asigala nga wakumwaanjo nnyo gyaali. Alannya nti; Ruud van Nistelrooy, Wine Rooney, Roy Keane ne Christiano Ronaldo basigala nga nabo bazannyi bamanyi wabula Beckham abakira.
Beckham myaaka 45 yeyamwagaza ennyo omupiira obulamu bwebwonna. Ssebamala annyumya nti omupiira Beckham yaguzannya naye yasalangawo mangu nadala bwekyatuuka nga mukuteeba. Agamba nti ye Roy Keane bali basajja njasabigu. Kyabanga kizibu okwanganga kkiraabu eno nga abazannyi abo balamu.
Mukaseera kano Beckham omupiira yagunnyuka. Musajja ssemaka era omwagala we ye Victoria Adams.
Bombi bano beyagadde nnyo okuva mu 1997 eranga basobodde n’okukuza ezadde lyabwe erya baana bana: Brooklyn Joseph, Romeo James ne Cruz David kwoteeka ne Harper Seven.
Bino byebimu kubyayagaza Ssebamala omusajja ono. Gyebuvuddeko Michele Obama yasiima Beckham olwokukozesa ekitone kyo obulungi era nasobola okwagaza bamusaayi muto nga okuzannya omupiira.
Beckham yomukubazannyi Alex Ferguson eyaliko omutendesi wa Manchester United beyasinga nga okwagala. Ferguson, 78, yayagala nnyo Beckhaam olwo buwulize nengeeri gyeyekubiriza nga okwetendeka okusimula firi kiiki. Bazannyi batono nnyo abamusinga nga mwekyo mubulaaya wonna.
Mukaseera kano Manchester United etendekebwa Ole Gunnar Solskjær.
Era Ssebamala agamba nti omuzannyi Marcus Rashford, 23, yamusingira. Rashford yakabazannyira emipiira 168 nabatebeera ggoolo 53.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com