Paapa Francis kitegezeddwa nti waakugenyiwalako mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo mu kibuga kikulu Kinshasa nemu Goma, obugenyi obusubirwa okuberawo wakati wennaku zomwezi 2 ne 5 mu July womwaka guno.
Oluvanyuma waakwolekera Juba, mu gwanga lya South Sudan,wakati wanga 5 ne 7 July.
Entekateeka eno erangiriddwa Ssabaminisita wa DR-Congo ne kkereziya mu kibuga Kinshasa.
Ssabaminisita Jean-Michel Sama Lukonde agambye nti omulangira kkereziya ajja kubasabira, n’okubawa obubaka obwokutabagana.
Agambye nti bebamuyise okubakyalirako.
Omwogezi wa gavumenti Patrick Muyaya agambye nti wabadde wayise emyaka 37 okuva Paapa John Paul II yakyalako mu Congo.
Wabula obugenyi bwa Paapa mu Juba bwali bwalangirirrwa dda, naye buzze bwongerwayo, olw’ensonga ezikwata ku byokwerinda.
Yali waakulyala e Juba mu 2015 entekateeka nebajijulula okujizza mu mwaka gwa 2017, era ekitasoboka mu mwaka ogwo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com