Omukulembeze we kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta akubye abantu be Lango akaama, n’abategeeza nti Gavumenti eri mu buyinza elina ekkobaanre ly’okubakuumira mu bwavu nga kino kiva ku mbeera y’okugaana mu bugenderevu okubasasuka ebintu byabwe bye baafiirwa mu biseera by’olutalo lwa Kony.
Kabuleta agamba nti mu mwaka gwa 2010 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yategeeza nga bwe waaliwo entekateeka y’okusasula abantu bonna abafiirwa ebintu byabwe saako n’abenganda zaabwe, kyokka n’okutuusa kati tebafunanga yadde ennusu.
Ekitundu kye Lango kilimu Disitulikiti 9 okuli Alebtong, Amolatar, Apac, Dokolo, Kole, Lira, Oyam, Otuke ne Kwania nga eno abantu abawangalirayo ekigulira magalo eddiba bakijja mu kulima nga bakozesa ettaka lyabwe.
Bwe yabadde ayogerako n’abakulembeze saako ne bannabyabufuzi abaagwa mu kalulu ku lw’okutaano, Kabuleta yagambye nti, ekitundu kino kye kimu kwebyo ebisinga okuba mu mbeera embi naye nga kino kivudde ku kuba nti Gavumenti teyagala kuwuliriza bizibu ebiluma abantu beeno, saako n’okubatandikirawo ebintu ebisobola okubayamba okuva mu bwavu.
“ Ekyamazima nkimanyi nti bantu mwe mwafiirwa ebintu byamwe bingi mu lutalo lwa ADF omwali amayumba gammwe, ebisolo n’ebintu ebilala eby’omuwendo, abalala kati mwafuuka banoonyi ba bubudamu naye nga kino kyava kukuba nti waaliwo okulwanagana wakati wa Museveni ne munne Kony, nga balwanira obuyinza, kyokka olutalo bwe lwaggwa Museveni yabasuubiza okubasasula kyatanakola nga kye kisinze okubasiba mu bwavu buno” Kabuleta bwe yagambye.
Yabajjukizza buli kadde okulwanira ettunduttundu ku keeki ye Ggwanga, bwe kiba nga ddala baakuwona obwavu obubayonka obutaaba.
Mu kiseera kino ekisinde kya NEED kimaze okutalaaga ebitundu okuli Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei and Lango nga kibunyiza enjiri eri bannaUganda okulwanirira eby’obugagga ebiri mu bitundu gye bawangalira bileme okutwalibwa abatono
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com