Eyavuganyako ku ntebbe y’obwaPulezidenti mu kulonda kwa 2021 Joseph Kabuleta akunze abantu abali mu ttundu ttundu lye Teso okukomya okubeera abasabirizi mu Nsi yabwe, nagamba nti buli kyabugagga ekiri mu Uganda bakivunanyizibwako kyenkanyi.
Ono nga ye Ssenkulu we kisinde ki The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) agamba nti bannaUganda balina okufuna omugabo ku by’obugagga ebiri mu bitundu byabwe kyenkayi, sso ssi kutwalibwa bantu ab’olubatu ne begaggawaza bokka n’abokka ekitali kilungi.
Okwogera bino Kabuleta yabadde asisinkanye bannabyabufuzi mu kitundu kye Teso naddala abo abaagwa mu kalulu akawedde, mu kawefube we gwaliko okusobola okubazaamu amaanyi saako n’okubalambika ku kilina okukolebwa okusobola okutaasa abantu ba wansi.
“Ekitundu kino kilimu eby’obugagga bingi nnyo naye bwe mbabuuza abantu bammwe abawansi bye bafunyemu tewali ayinza kundagayo yadde ekimu”
Eno ye nsonga lwaki abasinga kummwe muli baavu lunkupe kubanga ebyammwe bitwalibwa mulaba nga tewali ayamba” Kabuleta bwe yagambye.
Yategezezza nti ensonga eyamututte e Teso kwe kujjukiza abantu baayo nti balina ebintu bingi bye bayinza okukozesa okwekulakulanya, saako n’okubazaamu amaanyi nti bwe baba babilwaniridde ne babifunako obuvunanyizibwa basobolera ddala okubifunamu ne beekulakulanya.
Yakyukidde bannabyabufuzi abaagwa mu kulonda okwaggwa nabasaba bafube okusomesa abantu baabwe bamanye nti balina obuvunanyizibwa okukuuma eby’obugagga ebili mu kitundu kyabwe saako n’okubikozesa basobole okwesiima.
“Abantu bonna abatasobola kufuna mukisa kuyita mu kalulu bangi nnyo ate baamugaso nnyo eri e Ggwanga kubanga baalondebwa abantu bangi era ababakkiririzaamu nga yensonga lwaki ekisinde kya NEED twasalawo okubanoonya tubazeemu amaanyi basobole nabo okubaako kye bayamba mu bitundu gye baali beesimbye” Kabuleta bwe yagambye.
Goretti Asio, nga ono ye yali omukiise omukyala owa Disitulikiti ye Soroti yagambye nti ekitundu kye Teso kikoseddwa nnyo obwavu obusibuka ku Gavumenti okulwawo okusasula abalunzi Ente zaabwe ezatwalibwa abakaramoja, saako n’obubbi bwe ttaka obukudde ejjembe mu kitundu kino.
“Ensonga y’obutasasulwa byaffe kati kaafuuka kazannyo ka bannabyabufuzi kubanga buli lwe wabaawo okulonda abakulembeze naddala aba NRM nga bavaayo okwogera ku nsonga eno okulonda bwe kuggwa bonna nga basilika” Asio bwe yategezezza.
Mu kiseera kino ekisinde kya NEED kimaze okutalaaga ebitundu okuli Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso ne Sebei
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com