Kaabadde keetalo mu Kampala ne miriraano nga bannanyini mabbaala saako n’abakozi babuukira waggulu oluvanyuma lw’ebbanga omukulembeze we Ggwanga lye yalaga okuggwako mu kiro ekyakeesezza ku mande.
Bano bakira obwedda basooka kukuba luyimba lwa Ggwanga saako ne kitiibwa kya Buganda olwo abaabadde wabweru ne bayingira omwenge ne gutandika ccupa ku ccupa.
Abasinga obwedda amaloboozi gali waggulu nga balaga obuwanguzi bwe batuuseeko, oluvanyuma lwe bbanga lya myaka ebiri nga bali ku muggalo.
Banyonyodde nti ebbanga elyo lyonna babadde beekweka bwekwesi okusobola okubaako kye bassa mu lubuto saako n’okukyusa ku bwongo, nti naye kati bagenda kunywa nga tewali abakuba ku mukono.
Bannanyini mabaala abamu mu Kampala ne Mukono abatayagadde kubaatula mannya baategezezza nti obuwanguzi bwe batuuseko bwa kika kya waggulu nnyo nti kubanga obwavu bubalumye ne batuuka n’okusingayo ebyabwe mu ma Bbanka era ne bitwalibwa.
“Ekyamazima n’atuuka n’okuzaayo abaana ku ssomero nga omusingo lunaku bbaala yange lwe ggulawo era abasomesa ne banzikiriza, kati kankole e sente nsasule amabanja gonna era tusaba omukulembeze we Ggwanga aleme kufunamu mbeera yonna etuzza ku muggalo kubanga ffe tumanyi okwekolera” Omu ku bo bwe yagambye.
Abalala baasabye Pulezidendi Museveni alowooze ku kuta ne Boda Boda zigende mu maaso nga zikola, kubanga zezitambuza bakasitoma baabwe mu kiro nga singa teziteebwa emirimu gigenda kuba mitono ddala.
Ekirwadde kya Covid 19 okuva lwe kyazinda Ensi yonna amawanga ag’enjawulo gaasalawo okuggala ebifo byonna ebisanyukirwamu era nga ne mu Uganda Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggalawo, wabula ku ntandikwa y’omwaka guno yalagira e Ggwanga okuggulawo 10, kyokka ebifo ebisanyukirwamu n’abiwa ennaku 14 endala ezaweddeko olunaku lwe Ggulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com