MINISITA we nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire avuddeyo ku nsonga y’omujaasi wa UPDF agambibwa okukuba amasasi omusilikale wa Poliisi agaamukutuddeko okugulu, nagamba nti saawa yonna bagenda kumukwata avunanibwe nga amateeka bwe galagira.
Otafiire agambye nti embeera eno gyayogeddeko nga eye ffujjo abajaasi gye bakola ennaku zino teyinza kukkirizibwa kubanga nabo balina amateeka agabafuga nga tebasobola kugenda nga bakuba bantu masasi awatali kukwatibwako.
Anyonyodde nti tewali kusonyiwa kwonna eri omuntu yenna akozesa emmundu okulumya abalala, nagamba nti nga omujaasi eyayita mu lutalo okununula e Ggwanga bina tajja kubikkiriza.
Okwogera bino abadde ayanukula ku mbeera eyaliwo ku ntandikwa ya wiiki eno omujaasi wa UPDF bwe yajjayo emmundu naakuba omupoliisi we bidduka Robert Mukebezi amassi mu kugulu nga amulanga kulagira mmotoka y’amaggye nnamba H4DF 1391 eyali ekoze akabenje etwalibwe ku Poliisi ya Kiira Road.
Otafiire agambye nti tajja kwetonda ku lwa munnamaggye atalina buvunanyizibwa, agenda nga akuba abantu amasasi bwatyo, nayongerako nti ne bwanekweka bajja kumujjayo avunanibwe.
Okunonyereza kulaga nti omujaasi eyakoze kino akolera mu kitongole kya maggye ekikessi ki CMI ekisangibwa e Mbuya, era nga mu kiseera kino omupoliisi eyakubwa amasasi okugulu okumu abasawo baakusazeeko okutaasa obulamu
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com