MINISITA omubeezi owa Micro-finance Haruna Kyeyune Kasolo alidde mu ttama natabukira abatuuze b’omubizinga bye Buvuma abagambibwa okukakkana ku nsimbi z’emyoga ne bazirya, nagamba nti balina okuzizza amangu ddala kubanga tezaali zaabwe wabula zaali z’akwewola nga zirina okukomezebawo mu bibiina byabwe beekulakulanye.
Kasolo okutabuka kyaddiridde okugenyiwalako e Buvuma okusobola okulaba butya emirimu gye myoga bwe gitambula ku lw’okubiri, wabula kyamubuseeko bwe yakitegedde nti waliwo abantu abeewola ensimbi zino era ne bazilya nga bagamba nti zaali zaabwe nga zibawereddwa Gavumenti.
“Mikwano gyange mbagamba nti buli eyatwala sente azikomyewo bunnambiro nga ebintu tebinamwononekera kubanga ensimbi ezo tezaali z’akulya, era eyabagamba muzilye agenda kubaleetera ebizibu” Kasolo bwe yagambye.
Era yanenyezza abakulembeze abaali mu ntekateeka saako n’okusomesa abantu abaali bagenda okuganyulwa mu nsimbi zino, nagamba nti kilabika tebakkaatiriza bulungi ku nkozesa yaazo ekivuddeko abantu okuzikozesa nga bwe baagala.
“Ekyamazima entekateeka eno yakosebwamu kko embeera ya Covid, era abasomesa tebaafuna budde bumala kuteekateeka bibiina ebyali eby’okufuna sente zino saako n’okuba nti obubaka tebwatuuka bulungi, kitegeeza nti abantu ab’olubatu be baatuula ne basalawo ku nkozesa yaazo, kati ndagidde zonna zisooke zikomezebwewo tuddemu bupya okutekateeka” Kasolo bwe yayongeddeko.
Yategezezza nti olw’okuba akizudde nti Disitulikiti ye Buvuma ekolebwa ebizinga 52 ate nga byesudde nyo, nagamba nti bagenda kukola entekateeka nga buli Ggombolola egenda kuba ne nsawo eyayo kikendeeze ku nsimbi abantu ze basasanya nga bajja ku Disitulikiti okugoba ku bye nsimbi ate nga z’akwewola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com