Abatuuze mu ttunduttundu lye Sebei bavudde mu mbeera ne basalawo awatali kwesalamu okuwalawala Gavumenti ya Uganda mpaka mu kkooti ya East Africa nga entabwe Eva ku kubasengula ku ttaka lyabwe kwe baali bawangaalira nga tebasasuddwa.
Kigambibwa nti oluvanyuma lwa Gavumenti okuzuula nti ettaka elimu eliri mu bitundu okuli Kween, Bukwo ne Kapchorwa mwalimu ebyobugagga omuli Zaabu, Limestone, amafuta nga kwotadde ne byobulambuzi omuli ebiyiriro bya Sipi, abakulu mu Gavumenti baasalawo okusengula kyokka nga tebasasuddwa ngabwe kyali kikkanyiziddwako.
Bagamba nti Eno baali bayimiriddewo ku byabulimi bye batakyadobola kutambuza mu bitundu gyebaabaza kye bagamba nti kino kibanyize nnyo ebitagambika, nga baagala kkooti etunule mu nsonga zaabwe basasulwe kubanga buli kimu ne pulezidenti Museveni akimanyi.
Baagaseko nti ne mu kiseera eky’okusengulwa baafiirwa abantu baabwe bwe baali balaga obutali bumativu ku ngeri ebyabwe gye byali bitwalibwamu awatali yadde okubaliyirira ensimbi nga ne gye baali balaga essuubi lyali ttono ddala okufunayo akalungi.
Amon Teka, Ono nga ye Ssetebe we kibiina ekigatta ababanja Gavumenti yategezezza nti kati bawezezza emyaka 20 nga batambula offiisi ku offiisi gye basuubira obuyambi bw’okubasasula ettaka lyabwe elikunukkiriza mu Hekiteeya 60,000 lye baagobwako nga Teri yadde ayamba.
” Tugenda mu kkooti ya East Africa era nga Pulezidenti Museveni yoomu KU betugenda okuwawabira nga omuntu saako ne Gavumenti ye olwokunyaga ettaka lya ba jjajja baffe, okulemererwa okututebenkeza mu bitundu ebilala saako nokutta abantu baffe abasoba mu 40 mu bitundu bye Kween.
Kyenyamiza nti Gavumenti yagenda mu maaso n’eziimba ennyumba ezisoba mu 3000 ku ttaka lyaffe era n’eleeta abantu okubajja mu bitundu ebilala nebatuuza ku ttaka lyaffe lye taatusasula, twagala okutegeeza Ssabaminisita Nabbanja nti ettaka elyo offiisi ye teligulanga” Teka bwe yagambye nga mukambwe.
Yayongeddeko nti ettaka lino lyagabanyizibwa ebika 13 ngabkyakolebwa Gavumenti ya NRM neliwebwa abantu be Bulambuli nagamba nti banaabwe ababonabona balina okukimanya nti ebyabwe byatwalibwa Bantu abalina ente ezamayembe amawanvu abamanyiddwanga Abachwezi nga bayambibwako Gavumenti eri mu Buyinza.
Sofi Chelangat, Omu ku baakosebwa embeera Eno yabikudde ekyama nagamba nti bamalirivu okugenda mu kkooti ya East Africa kubanga bamaze ebbanga ddene nga baddukira eri Gavumenti naddala mu offiisi ya SsabaMinisita kyokka nga tebayambibwa Songa ebyobugagga byabwe byonna byatwalibwa abantu abatali ba mukitundu kyabwe bbo ne bakasukibwa mu nkambi za babindabunda.
Okwogera bino baabadde mu.lukiiko Olwayitiddwa Joseph Kabuleta eyavuganyako ku ntebbe yomukulembeze we Ggwanga era nga yakulira ekisinde Kya National economic empowerment Dialogue NEED ku mande bwe yabadde abakyaliddeko mu kawefube gwalimu okutalaaga e Ggwanga lyonna nga asomesa bannaNsi engeri gye bayinza okulwanirira ebyobugagga ebili mu bitundu byabwe saako okubikozesa okwekulakulanya.
Mu kwanukula Kabuleta yabagumizza nga bwagenda okubayambako okubafunira ba Puliida abalungi basobole okutwala omusango gwabwe mu kkooti basobole okufuna obwenkanya.
Yagambye nti bano okusalawo okugenda mu kkooti ya East Africa baalabye nga kkooti za wano tezirona kyamaanyi kyezigenda kubayamba mu nsonga zaabwe.
Yabategezezza nti balina okukomya okukaaba obukaabi nga abagagga batwala ebyabwe, nagamba nti balina okudda awamu basobole okulwanirira ebyabwe ebyensikirano nga tewali kwesalamu eddoboozi lyabwe liwulirwe mangu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com