MINISITA we by’amawulire ne Tekinologiya era nga ye mwogezi wa Gavumenti Chris Baryomunsi akalambidde ku ky’abasawo abakyalemedde mu keediimo, nagamba nti bano balina okwabulira amalwaliro saako ne nnyumba za Gavumenti mwe basula kubanga bagenda kuba nga tebakyabalibwa nga abakolera Gavumenti n’abantu ba bulijjo.
Baryomunsi agamba nti kino bataddewo nsalesale wa lw’akutaano luno nga abasawo abali mu kugezesebwa bamaze okusalawo ku ky’okukola, nti kubanga babakooye buli kadde okuba nti tebakola ate nga bakyali mu mayumba ga Gavumenti.
Okwogera bino abadde ku pulogulaamu ya Morning Breeze ku ttivvi ya NBS, mwasinzidde nalabula abasawo ku kyayise empisa embi n’obutalumirirwa bantu ba bulijjo wabula nga bafaayo ku nsimbi zokka.
“Abaana bano batumazeemu nnyo amaanyi kubanga kati bamaze sabiiti 6 nga tebakola wabula bakayanira nsimbi, naye tetugenda kusazaamu kye twasalawo ne minisitule ye by’obulamu ffe tubalinze ku lw’akutaano tulabe kye baliko bwe batadda ku mirimu bagobeddwa” Baryomunsi bwe yagambye.
Yayongeddeko nti ensimbi ezabasuubizibwa zigenda kubawebwa nga n’abakozi abalala bonna bwe bakyalindako nagamba nti bano balina okukimanya nti Ensi tekoma ku bbo nti kubanga ne bwe babadde mu keediimo amalwaliro gakola naddala banaabwe abamanyi nti okuba omujjanjabi kuyitibwa sso ssi kuyisa bivvulu.
Gye buvuddeko abasawo abali mu kugezesebwa baavaayo ne balaga obutali bumativu nga entabwe eva ku nsimbi ezibasasulwa ze bagamba nti zaali ntono nnyo okusinziira ku mirimu gye bakola mu malwaliro ga Gavumenti.
Bano baatuula n’omukulembeze we Ggwanga era ne bakkaanya ensimbi zino z’ongezebwe okuva ku 700,000 okutuukira ddala ku 2,500,000, zebagamba nti nazo tezinalabikako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com