Abakulembeze b’abakyala ab’egattira mu kitongole kya Uganda Women’s Effort to Save Orphans UWESO mu Disitulikiti ye Mukono, balaze obwetaavu okuva eri abakulira ekitongole kino mu Ggwanga lyonna okuvaayo ne ntekateeka okubangula abaami ku buvunanyizibwa bwabwe mu maka, kye bagamba nti kijja kuyambako okukomya obutabanguko saako n’okwongera amaanyi mu nyingiza y’omumaka.
Bano bagamba nti abaami baabwe bwe baba tebasomeseddwa buvunanyizibwa bwabwe, nabo emirimu gyabwe tegigenda kutambula bulungi, kubanga babetaaga bakwasaganyize wamu okusobola okw’ekulakulanya nga bayita mu nyingiza y’amaka Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni gyasimbyeko essira ennaku zino.
Okwogera bino baabadde mu lukungaana mwe baasisinkanidde akulira UWESO mu Mukono Ruth Isabella Mugarura, bwe yabadde agenze okubawa amawulire agakwata ku kitongole kyabwe, saako ne ngeri gye bagenda okukwasaganya emirimu mu kawefube w’okutaasa abakyala n’abaana gwe batuuma “2021-2030 kuva mu bwavu” nga ensisinkano yabadde ku ssomero lya Ntunda Primary School elisangibwa mu Ggombolola ye Ntunda e Mukono.
Aboth Jane Francis nga ono atuula ku lukiiko lwa UWESO olwa Disitulikiti era nga ava Ntunda yagambye nti, mu mbeera yonna gye balimu ennaku zino abaami beetagisa nnyo okumanya ebigenda mu maaso nti kubanga abakyala bwe beesigaliza ensonga z’okwekulakulanya mu maka bokka, omuli n’okutereka ensimbi tekiba kilungi kubanga kyetaagisa n’abaami okubayambako batereke, ziwere, abaana basome, bambale, balye bulungi ne bilala.
Yenyamidde olw’omuwendo gwa basajja abakabasanya abaana babwe okweyongera mu mu kitundu kye Mukono naddala mu gombolola ye Ntunda, n’agamba nti wano we wetaagisiza ddala amaanyi ag’ekika ekyawaggulu okulaba nga emize gino gikomezebwa nga bayambiddwako ekitongole kya UWESO.
Abakyala era banyonyodde nti ekyamazima bbo tebanaganyulwa mu ntekateeka za Gavumenti omuli Emyoga, ne nsimbi eziwerezebwa ku miruka “Parish Model” songa balina emirimu emitonotono mwe bajja ensimbi egy’etaaga okwongerwamu basobole okw’ekulakulanya.
Mukyala Mugarura mu kwanukula yagambye nti bagenda kufaayo nnyo okulaba nga bayamba abaana naddala abo abaafiirwako bazadde baabwe bonna, basobole okusomako saako n’okulaba nga bafuna obulamu ow’eyagaza nga abaana abalala bonna.
Yagambye nti essira bagenda kulissa nnyo ku nyingiza y’amaka nga bagoberera omulamwa gw’omukulembeze we Ggwanga nti kubanga amaka agalimu ku kasente n’okukolera awamu kw’abazadde tegasobola kubaamu butabanguko.
“Tugenda kulaba nga tufaayo n’okunonyeza abalimi baffe obutale kubanga tukizudde nti abantu baffe naddala abakyala balimi, naye bambi eky’enyamiza abasuubuzi babadondola amaanyi gaabwe ne gafiira bwerere nga tebafunyemu” Mugarura bwe yagambye.
Ekitongole kya UWESO kyatandika emyaka 35 emabega, nga kino kyali kirowooza kya mukyala w’omukulembeze we Ggwanga Janet Kataha Museveni ne kigendererwa eky’okutaasa abakyala n’abaana abaali bakoseddwa olutalo lwe myaka gye 1980 saako ne nawokeera wa Mukenenya eyali alese amabujje nga tegalina bazadde.
UWESO era yateekawo amassomero g’ebyemikono mu ggwanga agayambye abaana bangi okufuna obumanyirivu mu mirimu egy’enjawulo ne basobola okubeezawo obulamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com