Okunonya obululu e Kayunga kwatandikidde mu ggiya nnene nga buli yesimbyewo akola ekisoboka okumatiza bannaKayunga okumulonda.
Omumyuka w’ekibiina kya NRM asooka mu Ggwanga, El-Hajji Moses Kigongo yasabye abalonzi okusonyiwa ekibiina kya NRM mu kulonda kuno okubindabinda, baleke okukozesa obusungu anti abaganda bagamba nti ow’obusungu ayonona bibye. Wabula batunulire NRM by’ekozeko n’ebirubirirwa okusobola okutwala eggwanga mu maso. Ono yagamba nti singa abalonzi banatabikiriza ensonga, NRM yandida mussengavuddemu ng’azemu wadde nga kino ky’ekisera banakayunga okukakana besalirewo era bamanye nti NRM nene nnyo okusinga ssentebe wa NRM mu Kayunga, Moses Kalangwa Kalisa n’omubaka omukyala mu palamenti, Aidah Erios Nantaba.
Okwogera bwati, El-Hajji Kigongo yabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM ku mitendera egitali gimu abakola Ntenjeru North abakunganidde ku ssomero lya Namagabi SS e Kayunga mukawefube w’okusagulira Andrew Muwonge (NRM) akalulu k’entebe ya LC5 e Kayunga akabindabinda. Era nga 16th omwezi guno, banakayunga lwebasalawo eggoye kwani anatembetta disitulikiti eno ebanga erisigadde mu kisanja kino oluvanyuma lw’eyali mu ntebe eno muna NUP Ffeffeka Muhammad Sserubogo okufa nga tanabugumya nambogge mu ntebe.
Ono era yategeza nti buli kadde kaberako ebyako ekintu kyagerageranyiza ku ddini y’obuyisiramu nasaba banakayunga okukwata ensonga empolampola. “Bwetunatabikuriza ensonga, tewali wetutwala NRM wabula tulwane lutalo ku lutalo, lumu ku lumu; nga abayisiramu anti essawa y’eswala ebera yaswala n’olwekyo banakayunga muleke kukozesa busunga mu kulonda kuno, temwerabira NRM!” El-Hajji Kigongo bweyakatiriza.
Ye muna NUP, Harriet Nakwedde Kafeero yabadde mu gombolola ye Kitimbwa ng’asagula kalulu ku lw’okuna lwa ssabiti eno n’abalala okwetolola Kayunga.
Abavuganya ku kifo kino bali mukaaga wabula ng’okuvuganya okwamanyi kuli wakati wa NRM ne NUP.
Twakitegeddeko nti ssebakunzi w’ekibiina kya NRM, Hon. Rosemary Nansubuga Sseninde n’abakungu abatali bamu, bagumba mu Kayunga okutusanga ekibiina kifunye obuwanguzi mukulonda kuno. Era mukawefube y’omu, yasaba abakazibwa ery’abanene ba NRM e Kayunga, ssentebe Moses Kalangwa Kalisa n’omubaka Aidah Erios Nantaba okwewala okwenyigira obuterevu mu kolonda kwe Kayunga okubinda binda. Ekintu omubaka Nantaba kyeyasula omuguluka bwatyo nasalawo okuwagira Meeya Majidu Nyanzi (Indep) anti amateeka mbu gamukiriza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com