MUNNAKIBIINA kya National Unity Platform NUP Shamim Nambassa ye yalangiriddwa ku buwanguzi nga omukulembeze wa Ssettendekero Makerere nga omukulembeze we 87 mu kuvuganya okwabadde okw’omutawana.
Ono yavuganyizza ne bayizi banne abalala 9 era nga yafunye obululu 5610 okusinziira ku baakuuliddemu eby’okulonda ku lw’okutaano.
Oluvanyuma lw’okulangirirwa Nambassa obuwanguzi bwe yabutadde ku bwagazi abaana be Makerere bwe balina eri omukulembeze we Kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu, era ne yeyama okwogera ku buli nsonga yonna eluma omwamna we Makerere awatali kutya muntu yenna.
“Nkimanyi mulonze omuntu omuvumu atagenda kubatiiririra yadde naakamu mbasuubiza nti tugenda kukolera wamu nammwe” Nambassa bwe yagambye.
Mu balala be yabadde avuganya nabo kwab addeko Obeid Yahayaa Kamulegeya owa FDC) eyafunye obululu 1,548, Silve Bukala NRM ye yabuuseyo na 649, Ronald Mutsinzi (Independent) yafunye 1,187 ate , Agrippa Byayesu yafunye 697 ne Moses Tumusiime 145.
Nambassa afuuse omuyizi omuwala ow’okutaano okulya entebbe ye Makerere, nga kati wayise emyaka 7 oluvanyuma lwe yasembayo Anna Adeke Ebaju eyaliwo mu mwaka 2013-2014 nga kati ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Soroti mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Abalala kuliko Julian Norah Njuba, nga ono yeyasookera ddala mu mwaka gwa 1987-1988, Munnamawulire Sarah Kagingo, mu mwaka gwa 1997/1998, ne Susan Abbo in 2007-2008.
Nambassa muyizi mu mwaka ogw’okusatu nga asoma essomo ly’okutabula eddagala, (Pharmacy)
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com