OBUTAKKANYA bweyongedde wakati w’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule wamu ne Minisita we by’obulamu ebisookerwako Hanifah Kawooya Bangirana nga entabwe eva ku Mubaka Begumisa kyagamba nti munne asusse okumuyisaamu amaaso mu lujjudde lw’abantu buli kadde.
Gye buvuddeko bwe baaali ku mukolo ogw’okulondoola enkola y’eMyoga mu Disitulikiti ye Sembabule Minisita Kawooya yategeeza abaali mu lukiiko nti munne Begumisa talina yadde kyayinza kubayamba okujjako ye Minisita atuula mu Kabinenti, Begumisa kyagamba nti kikyamu kubanga bonna baalondebwa bantu era nga balina okukolera awamu.
Kino kyatuusizza Begumisa okuwandikira Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga abeeko kyakolawo mu ngeri y’okubatuuza Kawooya amunyonyole lwaki buli kadde amulima empindi ku mugongo songa bonna bakulembeze abaalondebwa abantu be Sembabule.
Ebbaluwa eno era yawereddwako Nampala wa babaka ba NRM mu Palimenti, Ssabawandiisi wa NRM nabalala okusobola okuyingira mu nsonga zaabwe babatabaganye baleme okuddamu okwesika ebitogi nga bali mu bantu.
“Ekyamazima neesimbawo kko ne Kawooya ku kifo ky’omubaka omukyala owe Sembabule nampangula emyaka kumpi 10 emabega, naye omukyala oyo alabika yasigalamu ennugu gye sitegeera kubanga buli gyalaga abeera kunze nga anjogerera ebigambo by’obukyayi mu bantu.
Kyendowooza mu kiseera kino tulina okukwatagana okukolera bantu baffe abatulonda sso ssi kutwala mpalana ezitalina makulu mu maaso, era nsaba abakulu mu kibiina ne mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu batutuuze twogerezeganye ebyo bigwewo” Begumisa bwe yagambye.
Kawefube w’okufuna omubaka Hanifah Kawooya agudde butaka oluvanyuma lw’okumukubira amasimu agamanyiddwa nga tagakwata.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com