MINISITA avunanyizibwa ku kulondoola eby’enfuna mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga Peter Ogwang amakanda agasimbye mu Kibuga kye Mbale mu Bugisu ne yewumya engeri abakozi ba Gavumenti ne bannabyabufuzi gye badiibudamu ensimbi wakati mu kukola emirimu.
Agamba nti bano balina okunonyerezebwako kubanga obubbi bwabwe bususse ssi ku nsimbi eziwerezebwa Gavumenti zokka wabula ne ku ezo ezisolozebwa okuva mu bantu n’amakolero mu kitundu ekyo.
Bino Ogwanga yabizudde oluvanyuma lw’okutuuka mu kibuga kye Mbale mu kulambula emirimu gyonna egikolebwa Gavumenti mu kitundu kino.
Ono yalambudde emirimu mingi egiteekebwamu Gavumenti ya wakati ensimbi okusobola okuzuulira ddala oba nga ddala ensimbi zikola kyezirina okukola era nga kyamutindo, kyokka okusinziira ku bye yazudde naddala ku massomero agazimbibwa mu kitundu kino byamwennyamizza bwe yagerageranyizza ne bitundu ebilala gyazze alambula.
Yagambye nti ab’eMbale ensimbi ze bakozesa okuzimba amassomero mpitirivu nnyo bwogerageranya ne mubitundu bya Busoga.
Yawadde eky’okulabirako nti okuzimba ekizimbe eky’ebibiina 2 mu Mbale kyamalawo obukadde bwe nsimbi 96, nti kyokka mu bitundu bya Busoga okuzimba ekizimbe kye kimu kyamalawo obukadde 48-54 kye yagambye nti tekikkirizika.
Ogwang era teyabadde mumativu n’omuwendo gwe nsimbi ezakozesebwa okuddabiriza amassomero ne nguudo za Gavumenti, naawa eky’okulabirako eky’essomero lye Boma ne Nashibiso agamalawo obukadde 48 ku 49 nga ne kabuyonjo yamalawo obukadde 56 kyagamba nti ensimbi zaali nnyingi okusinziira ku mirimu egyakolebwa.
Wano we yasinzidde nalagira okunoonyereza ku nkozesa ye nsimbi mu kibuga kye Mbale kutandikirewo nga anaagwa mu kitimba wakuvunanibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com