EYAVUGANYAKO ku ntebbe y’obukulembeze bwe Ggwanga Joseph Kabuleta atandise kawefube agendereddwamu okumanyisa bannansi embeera etali ntuufu eddagala eligema obulwadde bwa Covid 19 gyelibayisizaamu.
Kawefube ono atandikidde mu kutondawo omukutu ogumanyiddwanga falsevaccines.ug, nga kuno kwe kugugenda okutekebwa kalonda yenna akwata ku bakoseddwa eddagala elitali ddungi elyakozesebwa okubagema senyiga omukambwe okwetoloola e Ggwanga.
Mu lukungaana lwa bannamawulire Kabuleta lwatuuzizza mu Kampala, era nga awerekeddwako ne Puliida Dan Walyemera saako n’omusawo we biwuka ebikambwe Moses Mugisha, agambye nti tekili mu mateeka Gavumenti okukaka abantu okwegemesa nga bakozesa eddagala elitayise mu mitendera gyakugezesebwa ne lizuulibwa nti tuufu eri obulamu bw’abantu.
Kabuleta ategezezza nti kyakwenyamiza okulaba abakozi be ddagala eligema ekilwadde kya Covid, abakola ku kunonyereza saako n’abasawo abalikuba abantu bonna bakuumibwa amateeka agakola ku kufulumya saako n’okugema kyokka nga abantu be bagema tebalina kye bamanyi okujjako okuwulira nti lyagezesebwa ebweru we Ggwanga.
Ayongeddeko nti abantu bonna abagemeddwa mu Ggwanga be bamu ku abo abaatekebwawo nga ekyokulabirako mu Nsi yonna, nagamba nti kyokka nga eddagala elyabateekebwamu lilina ebizibu bingi eri abakyala abayonsa saako n’abaana baabwe kubanga litambulira mu mubiri.
Ayongeddeko nti eddagala lino elimu likosa ensigo z’omusajja ezizaala saako n’amagi agazaala mu bakyala.
Kabuleeta era nga yaliko munnamawulire awereza eby’emizanyo yewunyizza lwaki abantu bonna abagemeddwa tebakkirizibwa kugaba musaayi eri amaterekero g’omusaayi mu Ggwanga, nagamba nti waliwo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno okwetoloola ensi yonna nga Uganda tegenda kusigalira mabega.
Wano wasinzidde nasaba bannaUganda bonna abafunye obuzibu wakati mu kwegemesa baveeyo bawe obujulizi eri omukutu gwatandise ogwa falsevaccines.ug, wakati mu kulaga lwatu nti waliwo bantu banaabwe ababafuula emmese z’okugezeserezaako eddagala.
“Siyinza kukkiriza kungema oba nfa kanfe covid ne bwanakwata emirundi 100” Kabuleta bwe yagambye.
Mu ntandikwa y’omwaka guno Gavumenti ya Uganda yatandika okufuna obuyambi bwe eddagala eligema ekilwadde kya Covid omwali AstraZeneca, Pfizer, Johnson and Johnson neddala lingi nga ab’ebyobulamu bagamba nti lino ligenda kukendeeza ku ngeri ekilwadde gye kikwatamu bannaUganda.
Doozi obukadde 4 zezakawerezebwa mu Ggwanga okusobola okugema bannansi, era n’omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni akyagaanyi okuta e Ggwanga okwetaaya obulungi wakati mu kuziyiza abantu okukwatibwa ekirwadde kya Covid 19.
Gye buvuddeko Museveni yategeeza nti okuta e Ggwanga abantu obukadde 4 n’ekitundu bajja kuba nga bamaze okwegemesa, era nalagira ab’obuyinza bonna okuvaayo okulaba nga buli munti agemeddwa.
Munnamateeka Dan Walyemera agambye nti okugaana abakozi ba Gavumenti okugenda mu zi offiisi zaabwe okukola nga tebegemezza nti kuba kulinyirira ddembe lyabwe kye batagenda kugumikiriza
Omwogezi wa Minisitule ye by’obulamu Emmanuel Ayinebyona bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti abo bonna abagamba nti eddagala eligema covid telyesigika tebalina bya kukola nti balabika balina ekigendererwa eky’okujja abantu ku mulwamwa, nagamba nti eddagala lyonna elikozesebwa lyaggwa dda okuyisibwa ebitongole by’obulamu ebyensi yonna nga bituufu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com