ABABAKA bavudde mu mbeera ne batabukira Minisita we by’enguudo ne ntambula Gen. Edward Katumba Wamala olw’embeera embi enguudo mu Ggwanga gye zirimu.
Ababaka bagamba nti buli mwaka bassa ensimbi mpitirivu mu mbalirira ye Ggwanga ezirina okukola ku nguudo saako n’okuziddabiriza nti kyokka beesanga nga tezikoleddwa, ne babuuza wa ensimbi gye ziraga.
Bino byabaddewo mu lutuula lw’okulwokusatu Minisita Katumba bwe yabadde asabiddwa okwogera ku mbeera enguudo mu Ggwanga gye zirimu Ababaka ze bagamba nti tezikyayitikamu.
Katumba yategezezza nti mu mbalirira y’omwaka gwa 2014/2015 ne 2019/2020, Gavumenti yateekawo ensimbi obutabalika 16 mu obuwumbi 8 okukola enguudo empya saako n’okuddabiriza enguudo ezaali mu mbeera embi, nagamba nti ezimu kuzo zikyakolebwa n’okutuusa kati.
Yagambye nti essira okusinga babadde basinze kulissa ku nguudo ezo ezigenda okutambuza amafuta okugajja mu bitundu bye Bunyoro okudda mu Ggwanga lya Tanzania, ekyajje ababaka mu mbeera nga bagamba nti ensimbi nyingi zandibadde zikola ne ku nguudo endala.
Omubaka wa Mawogola South Gorret Namugga yagambye ekyandibadde kikolebwa ye Gavumenti okusooka okussa essira ku nguudo naddala ez’ebyalo ezitakyayitikamu, saako n’okukanika ebyuma ebikola enguudo Gavumenti bye yawa zi Disitulikiti mu kiseera kino ebitakyakola.
Asuman Basalirwa owa Munisipaari ya Bugiri yategezezza nti Oluguudo oluva e Jinja okudda e Bugiri saako ne Busia nalwo luli mu mbeera mbi, nategeeza Minisita Katumba nti nalwo lwetaaga kuddabirizibwa kubanga lutambuza ebimotoka ebinene bingi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com