POLIISI mu Kampala ekoze ekikwekweto n’eyoola abantu 68 abagambibwa okuba nti be bamu ku beenyigira mu bumenyi bwa mateeka obugenda mu maaso mu kibuga ennaku zino.
Kino kidiridde abantu ab’enjawulo okwekubira enduulu eri omuduumizi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano nga bwe waliwo ebibinja bya bavubuka ab’efunyiridde okunyaga saako n’okutemula bannaKampala ennaku zino.
Mu kikwekweto eky’akoleddwa wakati mu Kampala, Poliisi ye Kampala mukadde nga eyambibwako eya CPS baasazeeko ebitundu bye Nakivubo ne Kisenyi abasuubuzi gye bagamba nti eno efumbekeddeyo abayaaye saako n’ababbi ababba emisana ttuku nga tewali abakuba ku Mukono.
Ekibinja kya ba Poliisi abalala okuva ku Poliisi ye Katwe nabo baasazeeko ebitundu bye Masajja, Salaama, Mutundwe ne Bunamwaya nga eno ababbi babadde basusse okuteega aba Boda boda saako n’abebigere ne babanyaga.
Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yategezezza nti kino kyakoleddwa oluvanyuma lw’abasuubuzi saako n’abantu ba bulijjo okutegeeza Poliisi nti ababbi bagezaako okwagala okubasindika bagwe mu mwala gwe Nakivubo olwo mu kutya okungi ne bawayo eby’omuwendo bye baba balina eri ababbi olw’okwetaasa okufa.
Yanyonyodde nti abakwate abasing babasokodde mu mikutu egitwala amazzi wansi mu mwala gwe Nakivubo, nagamba nti bano bagenda kubaggulako emisango omuli ogy’obubbi era bagenda kusimbibwa mu mbuga z’amateeka ssawa yonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com