AMASIRO g’abaSsekabaka ba Buganda agabadde gamaze ebbanga eddene nga teaganaserekebwa kyadaaki goolekedde okumalirizibwa ganekanekane.
Enkya ya leero Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akulembeddemu abantu okubadde abakulira olukiiko oluzimbi, ba Nnalinya, Abagiriinya, Katikkiro wa masiro saako n’abalangira ab’enkizo mu mulimu guno okutongoza omulimu gw’okusereka ennyuma Muzibu azaala Mpanga ebadde emaze ebbanga eddene nga akasolya tekuli ssubi.
Omulangira Daudi Chwa yasoose okusaako enjole ze ssubi 4 nga akalombolombo akakolebwa nga batandika okusereka ennyumba omugalamidde ba jjajjaabe.
Katikkiro Mayiga agambye nti omulimu guno gubadde teguyimiridde nti tewali bikozesebwa, nti wabula wabaawo emitendera gy’obuwangwa egisooka okuyitibwamu okusobola okutambuza emirimu obulungi nga tewali kilekeddwayo.
Anyonyodde nti nabagenda okukola omulimu gw’okuwunda ebizizi abayitibwa Abagiriinya nabo bagenda kukolera wamu n’abaseresi okusobozesa omulimu gwonna okutambula obulungi ate mu budde.
Ategezezza nti omulimu guno gugenda kutwala ebbanga lya Ssabiiti emu nga guwedde kubanga ebikozesebwa byonna webiri.
Ajjukizza Gavumenti ku alipoota ekwata ku muliro ogwasaanyawo ennyumba Muzibu azaala mpanga, nagamba nti yadde nga yoomu ku baabuuzibwa ebibuuzo mu kakiiko akaali kanoonyereza nti naye yetaaga okugilabako.
Akulira olukiiko oluzimbi lwa Masiro ge Kasubi Owekitiibwa Kaddu Kiberu agambye nti essubi likyetaagibwa lingi ddala, nasaba abantu bonna okubakwasizaako mu kulinoonya amasiro gaggwe mu bwangu.
Nga 16.03.2010 omuliro gutamanyika gye gwava gwakwata ennyuma omugalamidde ba Ssekabaka ba Buganda emanyiddwanga Muzibu azaala Mpanga esangibwa ku Mutala Kasubi Nabulagala, ne gugisanyawo yonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com