KKOOTI enkulu mu Kampala egobye omusango munnaNUP Fred Nyanzi Ssentamu gwe yawawabira omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko ogw’ekuusa ku bubbi bw’obululu.
Nyanzi nga ye mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu eyavuganyako ku bwa Pulezidenti mu kulonda okuwedde yatwala Nsereko mu kkooti oluvanyuma lw’okulangirirwa nti yali awanguddde ekifo ky’obubaka bwa Kampala Central mu kulonda okwaliwo nga 14 January omwaka guno.
Nnyanzi era yawawabira n’abakakiiko ke by’okulonda mu Kampala nga agamba nti bano nabo beetaba buterevu mu kumunyaga nga baayongeramu obululu mu mabokisi obwayamba Nsereko okuwangula.
Aba kakiiko ke by’okulonda mu kusooka baasaba kkooti egobe omusango guno nga bagamba nti omuwawabirwa gwe baabagattako teyamanyisiobwako nti alina omusango mu kkooti, nga kino kitegeeza nti Nsereko teyafuna mpapula zimutegeeza nti alina omusango mu kkooti ogw’okwewozaako.
Ku lw’okubiri Omulamuzi Margret Apinyi abadde mu mitambo gy’omusango guno bwabadde awa ensalawo ye agambye nti akkiriziganyizza n’okusaba kwa kakiiko ke by’okulonda nti ddala Nsereko teyawebwa mpapula nga bwe kyalagirwa Kkooti.
Agamba nti etteeka lilagira kukwasa muntu gwe bawawabidde mu buntu sso ssi nga ba Puliida ba Nyanzi bwe baakola okuteeka empapula za kkooti ku geeti ya Nsereko kyagamba nti tekikkirizibwa.
Mu kusooka Nyanzi yategeeza kkooti nti yanoonya Nnsereko nga omuntu namubula, era ne basalawo okugenda mu makaage agasangibwa mu bitundu bye Bugolobi, nti kyokka omusilikale akuuma awaka yabategeeza nti mukamaawe yali mu kiseera ekyo taliiwo era empapula ne bazikwasa omuselikale ku geeti azimuwe nga akomyewo.
Yagattako nti empapula era yazitwala mu offiisi ya sipiika ku Plaimenti saako ne ku ssimu nga akozesa watsupp ya Nsereko, kyokka omulamuzi ebyo byonna tabiwulirizza nasalawo omusango okugugoba.
Omulamuzi Apinyi agambye nti ebyo byonna yabitunulamu nti kyokka ekyali ekikulu ye Nnyanzi okunoonya Nsereko nga omuntu amuwe empapula ekitakolebwa, bwatyo nagamba nti omusango tegusobola kuyimirirawo era naagugoba.
Guno gwe musango ogw’okubiri okugobwa ogw’efananyirizaako guno, nga ogw’asooka gwali gwa Sulaiman Kidandala gwe yawawabira Omubaka wa Kawempe North Muhammad Segiriinya
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com