OMUSUUBUZI omwatikirivu Haji Bulayimu Muwanga Kibirige amanyiddwa nga BMK afiiridde mu ddwaliro e Nairobi
BMK era ye nannyini zi woteeri ezimanyiddwanga Hotel Africana eziri mu mawanga egenjawulo mu Africa.
Ono era ye musuubuzi eyasooka okuleeta pikipiki azasooka okukola omulimu gwokusabaza abantu ezimanyiddwanga Boda boda nga zaatundibwanga mu Ndeeba Kampala mu Uganda yonna
Abadde amaze akaseera nga atawanyizibwa ekilwadde Kya Kookolo, kyokka nga gye buvuddeko yalabikako eri abengandaze be mikwano gye nga atongoza ekirabo kye ekilimu engeri gyazze atambuzaamu emirimu gyobusuubuzi saako nokuyigiriza abantu okukola.
Mu kiseera ekyo yalabika nga akubye KU matu kyokka kitegerekese nga wiiki 2emabega ekilwadde kyeyongera okumubala embiriizi natwalibwa mu ddwaliro e Nairobi gyafiiridde enkya ya leero
Entekateeka zokukomyawo omubiri gwe zikolebwa
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com